Museveni Yetondedde Kenya

Azaala Ekibi Akiwongerera

Lieutenant General Muhoozi Keinerugaba, nga ono kati Generali ajjude emirimu era nga abadde muddumiizi wa’amagye ga Uganda agokuttaka yakawangamula bweyayima ku mukutu gwe gumugatta bantu ogwa Twiita nagamba nti  Egye lya Uganda lyeyali adduumira lyaali terisobola kutwaala sabbiiti zisukka bbiri nga tebanaba kuwamba kibuga kya Kenya Nairobi. Ebigambo bino byatankuula abantu baangi mu Uganda ne Kenya.

Ugandan PulezidentiYoweri Tibuhaburwa Museveni, yennenyeza banna Kenya ne banna Uganda oluvanyuma lw’ebigambo bya mutabaniwe. Naye ate newanubadde nga Muhoozi yatyoboola ekitiibwa kye Ggwanga Uganda n’amagye ga UPDF, PULEZIDENTI YAMUSSUMUSSA EDDALA NAAMUTEEKA KU DDALA LYA GENERALI OMUJJUVU. Amaateeka agafuga enneyisa ya banna galagira abaserikale bonna obutennyigira mubyabufuzi. Ddala ddala kikyakubaganyiziibwaako ebirowoozo oba ddal okusobola okukuuma obwetengereze bwe gye lye Ggwanga tekiba kituufu okujjayo ababaka b’egye lye Ggwanga 10 abali mu Lukiio lwe Ggwanga olukulu.
Emabegako awo, pulezidenti yavaayo bukukubiira nakangavvula abaserikale nga Tumukunde Sejusa ne Besigye bwebayogera kuby’obufuzi ate nga baali bakyaali mu magye. .

Mungeri y’okusaanyawo emberebezi eyaletebwa generali Muhoozi ate nga era mutabaniwe, Pulezident wa Uganda yetondera munne owa Kenya olw’ebigambo ebyayogerwa Muhoozi Mutabaniwe.

” Abagalwa banna Uganda, baganda baffe abantu be Kenya ne banna buva Njuba bwa Africa, mbalamusizza mwenna era ne nsaba baganda baffe ne banyinaffe banna Kenya okutusonyiwa olw’ebigambo ebyayogerwa munna magye waffe Generali Muhoozi. Museveni bweyannyonnyola.  . Era nayozayoza banna Kenya okuyita mu kalululu akakaggwa emirembe.

” Tekiba kituufu omukozi wa gavumenti oba munnansi oba ow’amagye ge Ggwanga okuyisa ebigambo ebiyinza okuleetawo obukubagano mu mawanga ag’omuliriraano. Waliwo emitendera egiyitibwaamu nga  East African  Community (EAC) or African Union forum okutuusa obubaka omuntu bwayagala butuuke”

Advertising Toyota Vigo

“Mutusonyiwe  ndugu zetu WaKenya.era ne banna Uganda abanyiize olw’ebigambo bya Muhoozi eby’okweyingizi mu by’obufuzi bya Kenya. Okwetonda kuno kwonna nakutuusizza ku Pulezidenti William Ruto owa Kenya mu bbaluwa gyenamuwandiikidde.

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!