Ekibiina kya banna katemba, Bizonto kifulumizza akatambi kaabwe akasooka ku obwo 100 bwebasuubizza okusobla okukunga abantu bave mu Ttulo
Ekibiina kya banna Katemba, Bizonto kifulumizza akatambi kaabwe akasooka ku obwo 100 bwebasuubizza okusobola okukunga abantu bave mu Ttulo
Uganda Leero: Okwenunula Mu Uganda: Okuva Mu Kwenunula N’okudda Mu Busibira Mu Bbwa
Bizonto bagagamba nti ku lunnaku olumu, Yoweri Museveni n’eggye lya National Resistance Army (NRA) baakwaata ebyokulwanyisa nebasobola okujjako gavumenti ya Milton Obote. ekisuubizo kyaabwe kyaali kyangu naye nga kyamuggundu: Okununula abantu okubajja mu nfuga ey’obunyunyunsi, okunyigirizibwa n’efugabbi. Bizonto bagamba nti Museveni yakozesa okuyayaana kwa banna Uganda kwebaalina okununula e Ggwanga, Abaganda nebamwegattako okufuna enkyukakyuuka. Liba teriri busa, nga twadda dda mu sengavuddemu ngaddemu mu myaaka gino ana.
Akatambi akasooka ku butambi 100 bwebasuubizza aka Bizonto kawulirize
Bizonto bagamba nti Uganda yakakano eya Museveni eyimiridde kukutyoboola eddembe ly’obuntu , okubba eby’obugagga bye Ggwanga nga bagaggawaza akakundi k’abantu abatono abali ku lusegere lw’omukulembeze. Essuubi n’okujaganya ebyajja ne Museveni kati byafuuka okwemulugunya kw’okunyagulula e Ggwanga okubunnye e Ggwanga.
kati Bizonto basazeewo okkulembera olutabaalo lw’okwenunula nga bakozesa okwogera akaati nga bwowulira mu katambi kano. Munsi ejjude okutulugunya buli agezaako okwogera ku bulabbayi n’obukenuzi , Bizonto bagamba nti bali bulindaala okutusiibwaako ebinaddirira mu lutabaalo lwebakulembeddemu okuzza e Ggwanga lyaabwe mu nteeko.
Bizonto basazeewo kufulumya obutambi 100 nga bugendereddwaamu okuzibula abantu amaaso banna Uganda basobole okuva mu kunyigirizibwa.
Bizonto bagamba nti okutta abantu okwakolebwa abebiijambiya police yali ebimanyiiko era nti bebatambuzanga mu motoka okubatwaala mu bitundu we battanga abantu mu bitundu bye e Masaka. Bino byonna byanyonyolwa eyali omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu kiseera ekyo Mathias Mpuuga Nsamba, ate oluppapula lwa gavumenti olwa Bukedde lwakuba eggulire lino nga January 12, 2021 nga liraga omupoliisi eyavaayo nayasanguza nti poliisi yali mabega wa bijambiya. Robert Kyagulanyi Ssentamu (amanyiddwa nga Bobi Wine), yawangula Yoweri Museveni mu Buganda yonna, wano Bizonto webansinziira okukubiriza abantu olwebikolwa nga bino ebikolebwa gavumenti eri mu buyinza.
Oluppapula lw’amawulire olwa gavumenti (Bukedde) nga 12 Janwali 2021, lwafulumya eggulire ly’omupoliisi eyali awa obujjulizi nti Poliisi ye Ggwanga yali mabega wa bantu abaali batta bannaabwe n’ebijambiya. Kino kyaaliwo nga ne Mpuuga amaze okwogera ekintu kyekimu nti ab’ebijambiya baali baleetebwa mototoka nezigenda nga zibasuula bu bifo ebyenjawulo webavaanga nebagenda ne batta abantu.
UgandaToday is published by CMK Media Solutions. UgandaToday is your trusted source for news and analysis.
Partner with Uganda Today where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed.
Website:https://www.ugandatoday.co.ugWhatsApp: +256 702 239 337
X (formerly Twitter):@uganda43443 |
Email:ugandatodayedition@gmail.com
P.O.BOX 184351 Kampala.
Uganda