Ssaabasajja Kabaka Awezezza 69

Ronald Kimera Muwenda Mutebi II Yazaalibwa Nga 13 Kafuumuulampawu 1955 Ye Kabaka Wa Buganda Owa 36.

Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi nga akyaali mulenzi muto

Uganda Today Edition: Obwakabaka bwa Buganda obwazzibwaawo oluvanyuma lwe emyaka 27 wansi wa Muza Ngoma, Ssaabasajja Kabaka Mutebi,  buttutte obukulembeze obwesigamye ku nkulakulana omutali kuwugulwa. Obukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka bulambise okugenda mu mumaaso mu Buganda n’abantu ba Buganda mu mbeera yonna ey’ebyobulamu bwa bantu ba Kabaka.

Wansi wa Ssaabasajja, Buganda erambise  era netandulula ebigere munkola eyanjawulo mu byenjigiriza,  eri bantu ba Ssaabasajja bonna  nga aziimba amasomero, okusomesa abayizi nga ayita mu Kabaka Bbasale nokulaba nti buli mwaana wa Buganda afuulibwa ekyo kyasobola okukola.

Okutumbula eby’enfuna kibadde omulamwa omukulu  eri Ssaabasajja nga anoonyeza Obwakabakabwe ab’emikago egyobusuubuzi  nekigendererwa okuzza Buganda kuntikko nga abantu bonna bafuna emirimu.

Nga  Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ajaguza okuweza emyaka 69th, yemummuli era essuubi eri abantube . Ebintu byatandikiddewo abantube,  nga akabonero akenkunkunala  eri obukulembezebwe.

Ssaabasajja Kabaka nga agabulwa Omulangira Ssemakookiro Keeki Kumukolo gw’amazaalibwaage agemabega. Amazaalibwa agomulundi guno gaamusanze mitala wa Mayanja

Ebyafaayo N’obuzaale Bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi

Advertising Toyota Vigo

Ronald Kimera Muwenda Mutebi II yazaalibwa nga 13 Kafuumuulampawu 1955 ye Kabaka wa Buganda owa 36.

Yalondebwa okuba omubaka ow’omwooyo omulungi w’ekitongole kye Nsi yonna ekilwanyisa ekirwadde kya Mukennenya UNAIDS mubuva Njuba n’Amaserengeta ga Ssemazinga Africa nga essira alitadde mu Uganda.

Obwakabakabwe  bwatandika mu Kasambula 31, 1993 – Okutuusa kati)

Yazaalibwa  mu Ddwaliro e Mmengo nga 13 Kafuumuulampawu 1955. Mutabani wa Ssekabaka Sir Edward Frederick William David Walugembe Mutebi Luwangula Muteesa II, eyafuga Buganda, wakati wa 1939 ne 1969. Nyina ye   Nabakyala Sarah Nalule, Omuzaana Kabejja, eyeddira  Enkima.

Yasomera Budo Junior School, King’s Mead School mu Sussex ne Bradfield College, essomero lya gavumenti ya Bungereza West Berkshire. Bweyava eyo, naayingira Magdalene College, Cambridge. Nga wa myaka 11, yalondebwa Kitaawe okuba omulangira anaalya Obwakabaka nga  6 Muwakanya 1966. Nga ali mubuwanganguse, yakolako nga Omusunsuzi w’amawulire mu Katabo ka   African Concord era yali mubaka ku Lukiiko olufuzi olwa African National Congress (ANC) mu London. Nga 21 Museenene 1969, oluvanyuma lwokukisa omukono kwa Kitaawe, yafuuka omulangira eyali alindiridde okulya  Obwakabaka.

Ssaabasajja Kabaka nga ali ne Nnabagereka nga batuuka mu Lubiri e Mmengo okujaguza amazaalibwaage ag’emyaka 68

Yadda Mu Uganda mu 1988, oluvanyuma lwokusuuza Obote II  obuyinza bw’omukulembeze bwa Uganda obwaali buzze mu mikono gya Tito Okello Lutwa. Yalambula e Buddo nga 24 Kasambula 1993 oluvanyuma lw’okuzzaawo Obwakabaka mu Uganda. Nga 31 Kasambula 1993, yatuuzibwa ku Namulondo yabajjajjaabe e Buddo. Era kati ye Ssaabasajja Kabaka wa Buganda omujjuvu era Embuga y’obwakabakabwe eri mu Bulange e Mmengo”.

Obulamu Bwa Ssaabasajja

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yawasa Nnabagereka Sylvia Nagginda, nga 27 Muwakanya 1999 ku Kannisa Lutikko y’omutukuvu Paulo e Namirembe, mu Kampala.

Abaana b’engoma beebano

  • Omulangira (Kiweewa) Savio Muwenda Juunju Suuna. Eyazaalibwa mu  1986 mu London, mu Bungereza era nga Nyina ye Muzaana, Vénantie Sebudandi. Yasomera King’s College, Budo, gyeyava nadda e Bungereza okutwaala mumaaso emisomo gye.
  • Omumbejja Joan Nassolo.
  • Omumbejja Victoria Nkinzi.
  • Omumbejja Sarah Katrina Mirembe Ssangalyambogo Nachwa. Yazaalibwa mu  2001 mu London, Bungereza.
  • Omulangira Richard Ssemakookiro. Yazaalibwa mu 2011. Yayanjulirwa Obuganda nga 17 Gattonya 2012 eyali  Katikkiro wa Buganda, John Baptist Walusimbi, eyakakkasa nti Nyina ye Muzaana  ow’Enseenene  Rose Nansikombi okuva mu Ssaza lya Ssaabasajja erye Bulemeezi Luweero District.
Omulangira Muwenda Mutebi II mu County Kerry, mu Ireland kumazuukira ga 1966

Obuvunanyiizibwa Obulala.

Nga  15 Kafuumuulampawu 2011, Ssaabasajja yatwaala obuvunaanyizibwa bwokuba Cansala wa Ssetendekero Muteesa I Royal University. Ssetendekero Ssaabasajja yagitandikawo mu 2007 nagibbula mu Jjajjaawe Muteesa I, olwokuleeta ekitangaala kyokusomesebwa mu Bwakabaka bwa Buganda n’obutetenkanya obwawaggulu wakati mukuyingirirwa Abangereza, Abafalansa n’Abawalabu  mu myaka gya 1800.

Nga Kabaka wa Buganda Ssaabasajja, yemulungamya ow’okuntikko  ow’ekitongole kye  Nkuluze ekirabirira ebitongole byonna ebiri wansi w’Obwakabaka bwa Buganda.

  • Buganda Land Board, bano bavunaayizibwa ku Ttaka n’ebintu ebirala ebigwa mu kkowe eryo mu Bwakabaka bwa Buganda.
  • K2 Telecom – Kino kitongole kya byampuliziganya.
  • BBS Television – Eno Ye Terefayina y’Obwakabaka.
  • CBS FM eno ye Ladiyo y’Obwakabaka
  • Majestic Brands – Bano bakola kunteekateeka y’emikolo mu Bwakabaka n’okutunda ebintu ebikolebwa Obwakabaka.
  • Omwenge Engule Beer Nga bakolagana ne Uganda Breweries
  • Muganzirwazza Plaza – Kino kizimbe kyabyabusuubuzi e Katwe
  • Ekizimbe Masengere – (Kino mwemuddukanyizibwa emikutu gy’ebyempuliziganya CBS ne BBS Terefayina.
Oluguudo Kabaka Anjagala nga lukwatiridde abaddusi ku misinde gy’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 69

Obuzaale Bwa Ssaabasajja Kabaka

Ronald Muwenda Mutebi Kabaka wa Buganda owa  36, yazaalibwa Ssekabaka Sir Edward Muteesa era yazaalibwa nebanne bano wammanga: Abalenzi 14  n’Abawala 9

  1. Omulangira Kiweewa Luswata. Omulenzi omukulu wa Ssekabaka Muteesa II. Yazaalirwa Wakiso. Yabeeranga era yasomera Bufalansa.  Yazaama mu gye 1990 era naterekebwa e Kasubi mu Masiro, Nabulagala.
  2. Omulangira  Robert Masamba Kimera, Nyina yeyali  Nesta M. Rugumayo. Yazaalirwa mu Kampala mu 1950.Yasomera mu St. Mary’s College Kisubi ne King’s College Budo namalira e Canada. Yasoma bya Njazi era yakolerako mu kitongole ekikola ku by’Enjazi mu Swaziland wakati wa 1980 ne 1983. Yasomesaako mu Nakawa Vocational School from 1991 okutuusa 1992. Okuva mu 1993, mutuuze e Canada.
  3. Omulangira David Francis Ssuuna Kayima Ssezzibwa. Yazaalibwa mu Kitovu Masaka. Nyina ye Omuzaana Mary Nabweteme ow’Emmamba. Yasomesaako eby’obwongo era yazaamira e Denmark naziikibwa mu Masiro ge Bugembegembe mu Wakiso.
  4. Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, Nyina ye Nnabagereka ow’okubiri owa Ssekabaka Muteesa Sarah Nalule.
  5. Omulangira Frederick Wampamba Ssuuna, Nyina ye Edith Kasozi. Yali muvuzi wa Nyonyi era Commissioned Officer eyatongozebwa mu Ugandan Air Force. Kigambibwa nti yattibwa ku biragiro bya  Idi Amin e Bombo in 1972. Yaterekebwa mu Masiro e Kasubi  Nabulagala.
  6. Omulangira Henry Kalemeera, Nyina ye Damali Nnakawombe. Yasomera King’s College, Buddo ne Addis Ababa University, Ethiopia. Yasoma bya aeronautical engineer. Atuula mu United States. Era akola nga flight engineer mu American Airlines.
  7. Omulangira George Michael Ndawula, Nyina ye Muzaana Nalwoga.

 

  1. Omulangira Joseph Ndawula, Nyina ye Muzaana Nzera Nabakooza. Awereeza mu kitongole kya Uganda kunsonga z’ebweeru era akola nga omubaka wa Uganda mu  Uganda’s High Commissioner e Namibia
  2. Omulangira Richard Walugembe Bamweyana, Nyina ye  Sarah Nalule. Yazaalibwa  1956, yasomera mu Achimota School,e Ghana, era nakolera mu kitongole ekikola ku misono n’okulanga eby’amaguzi. Yazaama mu gye 2000. Yaziikibwa mu Masiro e Kasubi Nabulagala.
  3. Omulangira Katabaazi Mukarukidi, Nyina ye Damali Nnakawombe. Muvuzi wa Nyonyi e Nigeria.
  4. Omulangira Patrick Nakibinge, Nyina ye  Sarah Nalule. Yazaama mu gye 2000 era n’aziikibwa mu Masiro e Kasubi  Nabulagala.
  5. Omulangira Daudi Golooba. Yasomera  King’s College Budo ne Makerere University. Mubalirizi wa bitabo era mubaka omutandisi wa Buganda Heritage Association mu Bungereza (UK) ne Ireland (kyeyatandikawo 1998). Mutuuze e Bungereza  UK.
  6. Omulangira Herbert Kateregga, Nyina ye Kaakako Rwanchwende. Mutuuze e Bungereza UK.
  7. Omulangira Fredrick Mawanda Mutebi. Yazaalibwa mu 1965 Omuzaana Specioza Namagembe. Yazaama era yaterkebwa e mu Masiro e Bugembegembe mu  Wakiso.
  8. Omulangira Daudi Kintu Wasajja, Nyina ye Winifred Keihangwe. Yazalirwa mu Kampala m Muzigo 1966, nga Ssekabaka adduse mu Uganda. Yasomera mu University of Nottingham mu Bungereza UK, nakuguka  mu Bachelor of Arts. Yakolako nga executive underwriter mu Pan World Insurance Company era nakola nga  regional retail manager mu Celtel (Uganda) Limited (kati Airtel Uganda Limited). Mubaka ku kakiiko ka Buganda Land Board, Kabira Country Club, Hash Harriers Athletic Club, n’ebitongole ebirala. Abeera mu Kampala
  9. Omumbejja Dorothy Kabonesa Naamukaabya Nassolo, Nyina ye  Damali Nakawombe. Yazaalirwa  Mengo mu Lubiri mu 1951. Yasomera mu University of Nairobi. Abeera mu Kampala.
  10. Princess (Omumbejja) Dina Kigga Mukarukidi, whose mother was Beatrice Kabasweka. She works at the headquarters of the African Union in Addis Ababa, Ethiopia.[19]
  11. Omumbejja Anne Sarah Kagere Nandawula,  Nyina  ye  Kate Ndagire.  Yazaalirwa  Mengo in 1951.
  12. Omumbejja Catherine Agnes Nabaloga,  Nyina ye Kate Ndagire. Ye Nnaalinya Lubuga wa mwanyina Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, Kabaka wa Buganda,okuva 1993. Omumbejja  Nabaloga wa  Buganda Heritage Association mu Denmark, kyeyatandika mu 1998. Yasoma bya Doctor of Philosophy degree in linguistics.
  13. Omumbejja Alice Mpologoma Zaalwango, Nyina ye Edith Kasozi. Yazaalibwa mu 1961. Yasomera  Gayaza Junior School, Kibuli High School, ne Makerere University. Yafiira  Pretoria, South Africa olwa Kokolo wa’Amabeere nga 23 March 2005. Yaterkebwa mu Masiro e Kasubi.
  14. Omumbejja Stella Alexandria Sserwamutanda Ndagire. Yazaalirwa e Nairobi, Kenya. Nyina ye Zibiah Wangari Ngatho, yakulira mu Kampala ne Nairobi. Mutuuze mu Atlanta, Georgia, U.S
  15. Omumbejja Jane Mpologoma Nabanakulya. Yazaalirwa e Sunga mu, Buyaga mu, Bunyoro-Kitara , nga 12 kafuumuulampawu 1964. Omuzaana Naome Nanyonga ye Nyina. Mu 2003, yagenda e London, Bungereza, gyabeera ne Bba  David Segawa Mukasa.
  16. Omumbejja Gertrude Christine Naabanaakulya Tebattagwabwe. Yazaalirwa Mengo Hospital nga 20 Muwakanya 1964. Nyina ye  Margaret Nakato owe Nkumba, Busiro. Yabeera mu Uganda okuuka ku myaka 9, nadda e London, Bungereza gyeyakugukira nga omubazi w’ebitabo. Yakomawo mu Uganda mu 2013.
  17. Diana Balizzamuggale Teyeggala. Ye Muggalanda wa  Ssekabaka Muteesa. Yazaalirwa  Kampala mu October 1966, nga Ssekabaka ali mubuwanganguse. Nyina ye Catherine Karungu, Omumbejja okuva Ankole. Teyeggala teyalaba ku Kitaawe. Abeera muKampala.
Omumbejja w’Engoma Katrina Sarah Nachwa Nabaloga Ssangalyambogo bweyalabika nga akubwe emisomogye Oluku mumutwe.

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!