Nga Omuzanyi Wa Chess Omulungi

Mukitabo kye “Betrayed By My Leader:,
The Memoirs of John Kazoora”,
Major Kazoora yenyammira nnyo olwengeri president Museveni gyakyuusakyusaamu bannabyabufuzi nga akkola nga Omuzanyi wa chess bwakyuusa obutundu bwazanyissa mu muzanyo gwamaze okuwangula.

James Waphakabulo yali ammaze okulaga obukugu mukkubiriza olukiiko olw’ababaga Ssemateeka (constituent assembly) era nga ammaze okkussa emitima gyaabwe gyaali, bangi Kubo bafuuka ba memba ba Parliament mu lukiiko olwa Parliament olw’omukaaga, era tekyewuunyisa nti yalondebwa okuba omukubirizza w’olukiiko lw’eggwanga.

Museveni tayagalira ddala muntu mulala yenna kuttuttumuka okujjako ye yekka, era bweyalaba nti Wapakhabulo atuuse ku ddaala ly’eggwanga mubyobufuzzi, nakkola olukwe okumusuula.

Akakoddyo keyasooka okkola kwekumukyuusa namujja kubwa speaker namufuula National Political Commissar (ekifo ekitakyaaliwo) nga ammumatizza nga bweyali ajja okutambula eggwanga lyonna nga asomesa ebyobufuzzi olwo amuddire mubigere nga president. ”
Kazoora bwannyonyola”

Advertising

Engeri DP president General Norbert Mao gyeyewaanamu nti akkutte ekkubo erimutuusa mu buyinza, yeeyo yennyini Museveni gyayagala okumukozesa asobole okuteeka n’okwebungulula Buganda aggisse mukitimba kye.

Oluvanyuma Norbert Mao obo oli awo ajja okuba nga awereddwa ekifo mugavumenti ekisavva oba ekintu kyonna ekyefananyirizaako ajja kuba amaze okkozesebwa era asuulibwe.

Bya Philip Matogo

For any news you would wish to share with us or any comments, inquiries, recommendation or compliment, please email us on ugandatodayedition@gmail.com call/ WhatsApp on +256 702 239 337