Endagaano Kyeki?

Endagaano Y'obuganda Ne Kabaka

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Luwangula nga akkongojjebwa okulagibwa eri Obuganda nga ajjaguza ammatikkira ag’omulundi ogwa assatu.

Uganda Today: Nga Tujjaguza  Olwa Kabaka Muwenda Mutebi II Okuweza Emyaka Asatu Ku Nnamulondo Oba Enyonjo Entebe-nkeza Nnamirembe, Twejukanye Endagaano Y’omwoyo Eri Abaganda Obuganda N’obwakabaka

Bya Katwere

1- ENDAGAANO KYE KI?

Abantu, Amawanga, n’Ensi abakulaakulanye babaako Endagaano ezakolebwa, okulambulula engabanya n’engabana y’obuyinza n’obuvunaanyizibwa mwabo abetabye mu NDAGAANO ekoleddwa. Endagaano oyinza okuziyita “tontabalanga nange sirikutabaala”.

Advertising Toyota Vigo

Okwogera kwa Ssaabasajja eri Obuganda

Endagaano bwekolebwa, erambulula ensibuko y’enkolagana, entegeeragana, entabagana n’okukkaanya ku nsonga enkulu ezikuumirwako emirembe, obutebenkevu n’enkulaakulana eri abo abetabye mu kukola ENDAGAANO eyo.

Endagaano eraga ebyo eby’ensikirano (next of kin) abaganyulwa mu maanyi, obuyinza n’obuvunaanyizbwa bw’abo abeetabye mu ndagaano, singa Ttonda Ddunda, Katonda, Allah oba Omu Oyo (OMWOYO) Asingira ddala aba abajjuludde okuva mu bulamu bw’ensi.

Kino kiba kitegeeza nti “abantu bakola endagaano, naye omwoyo gweguba nnyini kukola endagaano, kubanga akoze endagaano, ne bwafa, omwoyo (obusika) gusigaliwo okukuuma endagaano eyo.

Endagaano za bika bingi ddala. Waliwo endagaano ezitabaganya abantu mu nteekateeka z’emirimu, ebyobufuzi, ebyenfuna n’embeera z’abantu abetabye mu ndagaano.

Waliwo ENDAGAANO (SSEMATEEKA) ezikolebwa abantu n’Amawanga okukkaanya ku nsonga ezitalizimu, okussaawo emirembe, obutebenkevu n’enkulaakulana mu batuuze abali mu mawanga ago.

Endagaano nnyingi ku mitendera egitali gimu zaakolebwa emyaaka mingi egiyise, era ng’endagaano ezo zikuumibwa butiribiri. Endagaano zibaako obukwakulizo obwamaanyi, okuzikuumira mu bulambulukufu bwazo; n’okulemesa ensekeezi okuzitagulula okusobola okutabangula abazikola. Endagaano ezo ziba zaakolebwa Omwoyo, kubanga omwoyo tegufa, yadde abazikola baba baafa.

ENDAGAANO Y’OMWOYO KYE KI?

Mu byafaayo by’Obuwangwa n’Ennono, awamu n’enzikiriza oba eddiini, zitambulira ku NDAGAANO z’Emyoyo. Nnabbi Muhamad (SWA), yawandiika Quran nga y’Endaalgaano, ya Allah (Omwoyo) eri Abayisiraamu n’obuyisiraamu mu nsi yonna. Ate Abantu abakkiririza mu Yeesu / Yeezu baawandiika BAYIBULI nga y’Endagaano y’enzikiriza ya CHRISTO, okukuuma ebiragiro bya Katonda (Omwoyo) eri abantu christians bonna ku nsi.

Mu ngeri yeemu abantu mu mawanga g’obuzaale bwabwe, bajjajjabwe baakwasibwa Endagaano ya Ttonda Ddunda, ebagattira awamu, mu nnimi zaabwe ez’enjawulo.

Awo nno waliwo endagaano za mirundi ebiri.

1- Endaagano z’Abantu

2- Endagaano z’Emwoyo.

Mu ndagaano z’abantu, abantu balina obuyinza okuzikyuusa nga bwe baba bagadde.

Endaggano z’Omwoyo, tewali muntu yenna alina maanyi, buyinza oba buvunaanyizibwa kuzikyusa. Wabula okuva OMWOYO lwe gwakwasa abantu endagaano z’Amawanga gaabwe, buli mulembe gutekeddwa okugondera ebiragiro by’Endagaano ezo, nga bwezakwasibwa bajjajjabwe.

ENDAGAANO Y’OMWOYO ERI ABAGANDA MU BUGANDA N’OBWAKABAKA BWABWE

Mu Buwangwa n’Ennono y’Abaganda n’Obwakabaka bwabwe, Kabaka ye kamu mu busatu: ye Ssaabalongo ENGO, Ssaabataka OMUSOTA era Ssaabasajja EMPOLOGOMA, nga y’Endagaano y’Omwoyo eri Abaganda, Buganda n’Obwakabaka.

Abaganda balina enjogera egamba nti “Kabaka asiimye, nga Ssaabataka yalambise, ate Ssaabalongo n’alunganya ensonga, so ate Kabaka ku Nnamulondo oba Entebe-nkeza Nnamirembe n’Olukiiko lwa Buganda n’awabula ebyasaliddwawo, Abalangira b’Emituba gya Basekabaka n’Abataka Abakulu b’Obusolya bw’Ebika. Era byonna Kabaka byalamudde, by’ebiragiro ebikwasibwa Ssaabasajja okubissa mu nkola.

Endagaano y’Omwoyo eri Abaganda, Obuganda n’Obwakabaka oyinza okugamba nti “nga bwekyaali ku lubereberye, bwekiri leero, era bwekiriba emirembe n’emirembe gyonna.

Omumbejja w’Engoma Katrina Sarah Nachwa Nabaloga Ssangalyambogo bweyalabika nga akubye emisomogye Oluku mumutwe.

OMUGANDA y’Endagaano y’Omwoyo ekuuma amaanyi g’Eggwanga omuganda ng’ekuumibwa Abalangira mu mbuga ya Ssaabalongo eyitibwa AMASENGERE, nga y’endagiriro y’Abaganda okuweerezanga n’okusinza Omwoyo, Ttonda Ddunda Allah Katonda.

BUGANDA y’Endagaano eyatongozebwa Omwoyo, abantu okuwaayo obuyinza bwabwe eri Ssaabataka okukulembera abantu bonna, abaana n’abazzukulu. Endagaano eyo ekuumibwa Abataka mu mbuga ya Ssaabataka eyitbwa KISEKWA.

OBWAKABAKA
y’Endagaano y’obuvunaanyizibwa bw’Abaganda bonna okukolera awamu wansi w’ebiragiro bya Kabaka, nga y’Endagaano y’Omwoyo eri OBWAKABAKA ng’ekuumibwa Abaami ba Kabaka mu mbuga ya Ssaabasajja, eyitibwa EKITIKKIRO.

Katwere Musajjakawa

(+256 704 801 313)

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!