Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi Wa Kubonekako Eri Obuganda Nga 29/05/2021 Esaawa 11 Ezakawungeezi

(Original Caption) Kabaka (King) Ronald Muwenda Mutebi II and Nabagereka (Queen) Sylvia Nagginda Luswata. (Photo by michel Setboun/Corbis via Getty Images)

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri, kikakasiddwa nti wakubonekako eri Obuganda era eyogereko eri abantube ngaayita kumutimbagano ogwa zoom nga 29/05/2021 ku saawa 11 Ezakawungeezi.

Bino byasanguziddwa minista wa Kabaka avunanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu owek. Joseph Kawuki era nebikakasibwa Katikkiro Charles Peter Mayega.

Kinajjukirwa nti Ssabasajja lweyasembayo okwogerako eri Obuganda zaali nga 13/04/2021 bweyali ajjaguza amazaliibwage mu Lubiri Emengo. Yabalika nga mugonvu nnyo ku olwo.

Kino nno kyaleetawo okwemulugunnya okw’amanyi okuva mu basajja nabazaana ba Kabaka abaalaga okwemulugunya kwaabwe nga bayita kumutimbagano. Wabula Katikkiro yabagumya nti abasawo baali bakkola dda buli ekisoboka okuzza Ssabasajja mumbeera ennungi.

Advertising Toyota Vigo

Nga wayisse ennaku bbiri zokka nga 15/04/2021, Ssabasajja yalabwaako oluwunguko ku Ssemaduuka Capital Shoppers e Ntinda nga aliko byeyegulira. Kino kyakakasibwa Katikkiro.

Ate omulundi ogubadde gukyasembyeeyo okulabikako, yali agemebwa ekirwadde Lumiima Mawuggwe COVID-19 mu Lubiri lwe e Bbanda, era teyasobola kwogera.

Kati Ssabasajja, yasiimwe okuggulawo olukungaana leave banna Uganda abali mu America olutuumiddwa Buganda Bumu American Charpter. Olukiiko luno lwakubaawo ku lwomukaaga luno nga 29/05/2021 Esaawa 11 ezawano.

Buli muntu anetaaga okwetaba mulukungaana luno waddembe okweyunga kumukutu gwa zoom nga akozesa namba zino wammanga.

Zoom ID 86555888217 with Pass code: 536777

Bwooba olina eggulire lyonna oba ekirowoozo kyona nga wandyagadde abantu abangi okimmanya, bituwereeze ku ugandatodayedition@gmail.com oba WhatsApp number+256 702 239 337

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!