Lilian Namuddu Awanjagidde IGP Ochola Ayingire Mu Nsonga Za Bbajjo Eyamukubira Ku Baba Tv

Ebbanga kati liyiseewo ligenda mu myeezi essatu bukya mukyala Lilian Namuddu aggulawo omusango ku mutegesi w’ebivulu Mukasa amanyiddwa nga Bbajjo.

Namuddu anyonyola nti ku programme elagibwa ku Baba Tv, ekiro ye Namuddu kweyali ne Bbajjo, Bbajjo yajja nga atamidde ate omukubiriza wa programme natafaayo kumugaana kujja kumpewo.

Nga programme egenda maaso Bbajjo teyasobola kunyonyola kintu kyonna kunsonga Namuddu zeyali attadde ku meeza. Yejuumula bwejuumuuzi namuwujja empi bbiri era yakuggirwa camera man eyajja amangu okutaasa omukyala ono.

Namuddu yaggulawo omusango ku police ye Ntinda, bano bamwewunyisa okumugamba nti omusango gwe gwaalimu omuntu omunene avunanibwa ate nga akolera pulesidenti. Bano bamwongerayo agende ku Old Kira police station.

Advertising

Eno nayo yagendayo nabawa buli kyebaali betaaga nga mubino mwaalimu video nabajulizi abaaliwo nga Bbajjo amuwujja empi basobole okkola okunonyereza kwaabwe n’oluvanyuma bakwaate omuwawabirwa.

Namuddu agamba nti okuva olwo police yatuulira file eno nabuli kati!

Awanjagidde IGP Ochola ayingire munsonga ze asobole okufuna obwenkanya newankubadde nti aba UCC abavunanyizibwa okulungamya emikutu gyempuliziganya programme eno bagiwera.

Lilian Namuddu yaani?

Lilian Namuddu

Namuddu mukyala omulwanirizi we ddembe lya Bantu naddala abakyala, okola omulimu gobwanakyeewa guno nga ayita kumikutu gyempuliziganya egitali gimu.

Bwooba olina eggulire lyonna, ekirowoozo oba ebintu ebirala nga wandyagadde abantu okubimmanya, bituwereeze ku ugandatodayedition@gmail.com oba WhatsApp number +256 702 239 337

Related Articles

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *