Buganda Tegenda Kwekutula Ku Uganda.


Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Edward Muwenda Mutebi ow’okubiri yasinzidde kumukolo ogwokujaguza amattikiraage agomulundi ogwa 28 mu Lubiri lwe e Nkoni mu Buddu nayasanguza nti Buganda tebangako era terina nteekateeka yonna kwekutula ku Uganda.


Mailo Land N’enteekateeka Ya Gavumenti Eyogeza Abantu Obwaama


Ssabajja eyabadde ayogeza obuvumu n’eddoboozi eryomwanguka, yanyonyodde nti “Buganda yetaba mu mitendera egyenjawulo okusokera ddala nga Uganda entondebwaawo ate era neyeetaba mu nteekateeka ezokuzaawo obwakabaka bwa Buganda obwaali bugiddwaawo obufuzzi bwa Milton Opeto Obote.

Ssabasajja yayongeddeko nti abantu abategeragana ne Buganda balekere awo okutwaala ensonga za Buganda nga ezolusaago.

Advertising Toyota Vigo


Ssabasajja yalambise nti ensonga za Buganda ezaali zirina okugonjoolwa mwaalimu.

Ssabasajja Kabaka empologoma ya Buganda nga annekedde mumajolobera gaayambazibwa nga attikkirwa


Bino Ssabasajja yategezezza nti byebimanyiddwa nga ebyaffe. Ssabasajja yasabye gavumenti eyongere ensako ku ba nnassayansi era n’abebaza okukola obutaweera okulwanyisa ekirwadde ki lumiima mawuggwe.


Ssabasajja wano weyakangulidde ku ddoboozi neyewuunya nti kati giri emyaaka 28 nga ensonga zino ezimu omuli n’eyettaka lya mailo tezigonjoolwanga. Kabaka yasiimye era nasaba basajjabe obutakoowa kusaba bekikwaatako okugonjoola ensonga za Buganda mu mirembe.


Kabaka yasoomozzezza abo bonna abalaliira nti mailo land ezingamya enkulakulana okukitegeera nti Buganda olwokuba nti eri mu massekati ga Uganda erina enkizo kubitundu ebirala abali mu gavumenti eyawakati byebalina okutunuulira mungeri eyenjawulo.


Yalabudde bekikwaatako balekere awo okutunuulira ensonga ze ttaka nga bettanira ttaka lya Buganda yokka era wano weyewunyirizza nti “lwaaki bwebaba bateekateeka amateeka kuby’ettaka, ettaka ly’ebitindu ebirala mu Uganda tebabitunuulira nakwegwaanyiza nga bwekiri ku lya Buganda?”. Kabaka yategezezza abantube nti buli ayagala okujjawo ettaka lya Mailo, oyo aba alwanyisa Buganda.


Bishop Tamale Katumba.


Ye, Bishop Tamale Katumba owa Church of Uganda West Buganda diocese teyayakunnye ku bigambo bya Ssabasajja ku bya mailo land.Yasabye wabeewo enteseganya kubekikwaatako naddala wano mu Buganda nga ne Kannisa ne eklezia mwobitwalidde kubanga nabo balina ettaka ku mailo land. Yasabidde Ssabasajja Kabaka obuwangaazi era nakkatiriza omulimu obwakabaka nga buyita mu Ssekabaka Muteesa owoluberyeberye gwebwakola okuleeta ekitangaala n’okusomesa abantu ba Buganda n’oluvanyuma Uganda eyawamu.


Katikkiro Charles Peter Mayega.


Mukwogera kwe Katikkiro yayise mu ngeri mailo land gyeyatondebwaawo okuva mu 1900 nokutuuka okkola etteeka ku yo mu 1928. Etteeka lino lyaali lirambika bulungi enkolagana ya nanyinni ttaka n’owekibanja. Yalambuludde nti Kyannaku nti mu 1975, Amin yagyawo etteeka lino, olwo emivuyo ku ttaka lya Mailo wegyaava. Mu 1995, constitution ya Uganda eyakolebwa yali erambise bulungi ensonga ze ttaka, naye ate bweyakolebwaamu enongosereza mu 1998, ettaka lya mailo lyateekeebwaako obuwayiiro obutaali bulungi. Wano weyasabidde eGgwanga liddeyo litambulize enteekateeka ku ttaka lya Mailo nga ligendera ku tteeka erya 1928.

Buli mwoogezi eyawereddwa omukisa okwogera, yabadde yekoona kunsonga yeemu eye ttaka nga banyonyola nti ettaka lyerikola buli Ggwanga, olulimi n’obuwangwa bwabantu abasangibwa mukitundu ekimu. Eno yensonga lwaaki Ssabasajja Kabaka ekittikkiro Kya Buganda ayitibwa Ssabataka.

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!