Ssangalyambogo Emisomo Agikubye Oluku Mu Mutwe

Omumbejja Ssangalyambogo Kati Mukugu Mubya Sayansi

 

Uganda Today

Omumbejja Ssangalyambogo Awangudde Emisomogye Ku Nottingham University

Omumbejja Katrina Sarah Nachwa Nabaloga Ssangalyambogo ne bayizi banne babuuliriddwa Pulezidenti n’omumyuukawe aba Nottingham University professor Shearer okuyingira mu Nsi y’emirimu n’omutima omwanjulukufu bweyabadde atikkirwa diguli eyebya sayansi mu Bungereza.

Okutikkirwa kuno kwaliwo nga 24/07/2023 ku David Ross Sports Village.

 Nnaabagereka wa Buganda  Sylvia Nagginda, yeyongedde okikkatiriza nti ekipimo ekituufu ekyobuwanguzi, bwebusobozi bwaffe okuyimusa abalala, okuleeta esuubi era nokuba ensibuko y’okuzzamu amaanyi abalala. Era nakubiriza Ssangalyambogo okukozesa obukugu bweyafunnye buleete ebibala ebyomugundu eri obulamu bwabalala. “Obuntubulamu yembeera yaffe nga abantu”.

Bino Nabagereka yabisibiridde omumbejja kukijjulo ekyekyeggulo ekyategekeddwa ku Corinthia,  Courtroom Whitehall in London, Bungereza okujjaguza okutikkirwa kwo mumbejja Ssangalyambogo. Omukolo gwetabiddwaako ab’enganda, ab’emikwaano ababaddewo ennyo mubulamu be’omumbejja okuva mu buto.

Advertising Toyota Vigo

Ekirabo ekyenjawulo okuva eri Kitaawe Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda   Mutebi II  kyatuusiddwa mukuluwe Naalinya Victoria  Nkiinzi.

Nnaabagereka nga ali ne Omusumba Kajumba

Omukolo guno gwetabiddwaako omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, omumbejja Victoria Nkiinzi, Jade Nakato ne Jasmine Babirye.

Abalala mwabaddemu, Catherine Doreen Bwete, Nakuya Juliet, Venerable Dr. Prince Daniel Kajumba, omubaka wa Ssaabasajja e Bulaaya mu UK ne Ireland Oweekitiibwa Ssalongo Geoffrey Kibuuka n’omumyuukawe Rev. Enock Kiyaga Mayanja, Omukungu G W Kalanzi, Omutaka Nkalubo Richard (Musu), n’omukungu Edgar Kavuma. Abalala mwabaddemu  Dana Ingabire akulira okutegeka emikolo gya Nnaabagereka Gemma Morgan-Joned University  ya Nottingham yakiriddwa PROF. Dr Sarah Turner and Prof Dr Natalie Moore okuva mu Nottingham University Business School.
PROF Frederique Bouilheres

Omukungu okuva mu University ya Nottingham n’omusumba Daniel Kajumba nga bawayaamu ne Nnaabagereka

Nottingham University nayo yategesseeyo omukolo ogwenjawulo okuyozayoza omumbejja ne Nnaabagereka ku Brailsford Suite .

Nnaabagereka, nga yategezezza bweyenyumiriza ennyo mukuwangula emisomo n’obuwanguzi Ssangalyambogo byeyatuuseeko era neyebaza Katonda okubatuusa ku kkula lino. Nnaabagereka era yebazizizza abayambye ennyo omumbejja okusobola okumalako emisomo naddala Nyina omuto mukyala Cate Bwete, Mwami Solomon ne mukyala  Grace Kabuye e Nairobi, ba Nyina Sarah Kiyingi, Barbara Mulwana-Kulubya, Maria Kiwanuka nabala bangi abaamulabirira nga omwana owaabwe.  Ssengawe Nalinya Elizabeth Nakabiri, Sylvia Kibaya, Ven. Dan Kajumba n’omukungu  Edgar Kavuma, Omukungu Rev. Enock Kiyaga nabalala.

Nnaabagereka, Ssangalyambogo  nabagenyibe ku mukolo gw’omumbejja

Yebazizza Ssangalyambogo olwokuba owegonjebwa, omuwulize eri abantu bonna.

Ssangalyambogo yatandika emisomogye ku Kampala Junior Academy, Kabira International School mu Uganda, kati eriyitibwa Kampala International School, weyava nagenda ku Peponi School e Nairobi okusoma haya oluvanyuma nayingira, Nottingham University okumala emyaaka ena.

Ssangalyambogo bweyageenda e Bulaaya yalinga eyetongodde naye ate kyaleetera obazadde obwetalikirivu.

Ssangalyambogo yazaalibwa mu 2001 mu Bungereza nga ono mumbejja ow’e Ngoma owa Ssaabasajja  Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ne Nnabagereka wa Buganda Sylvia Nagginda.

Katrina- Sarah muwuzi wansuso era nga awangudde emidaali mingi.

Omumbejja  ayagala nnyo omupiira era muwagizi wa  Manchester United. Mu 2017 bweyali nga alambula ekitebe kya  Manchester United, Ssangalyambogo yawandiikibwa nga omubaka omutongole mu Manchester United.

Ssangalyambogo era amanyiddwa nnyo nga omuntu wa bantu era nga alina abantu ababuli kika abawerera ddala  155,000 ku mikutu mugatta bantu.

 

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!