Amawulire

Nambooze Alaze Obubbi Obwakoleddwa Mu Kalulu Ke Kalangala

Wuliriza akatambi+256 702 239 337: Nebwebazina essaawa 24  nga bazinira omuntu waabwe, ebyo byonna bwebiggwa, NRM yesalawo ani awangula

https://vt.tiktok.com/ZSC2d884b/

Nambooze ne Nalukoola nga balaga obujulizi bwokubba akalulu e Kalangala. Koona ku Katambi waggulu awo.

UgandaLeero:Nambooze Alaze Obubbi Obwakoleddwa Mu Kalulu Ke Kalangala

Omubaka wa Mukono Municipality ate era nga memba wa NUP, Betty Nambooze Bakireke nga ali wamu ne munne owa Kawempe North Elias Nalukoola, balaze obubbi bwakalulu ke Kalangala akabadde akokujjuza ekifo kya Nakimuli eyali owa NUP eyava mu bulamu bwe ensi gyebuvuddeko katono. Bikkula akatambi waggulu olabe

Mukatambi kano wammanga, Nambooze yalaze endagaano eyakolebwa wakati wa chairman wa NRM e Kalangala nábalondesa okukola kyonna ekyaali kisoboka okuteeka obululu obwaali buwerera dedala 6000 nga buno bwaali bugoloddwa nga bwa Nabayiga owa NRM eyalangiriddwa nga omuwanguzi.

Akakiiko Kébyokulonda Kazze  Kasoomozebwa Olwókulangirira Amankyoola mu Bululu Obwenjawulo

Okuviira ddal mu 2021, mu kunoonya akalulu k’okujjuza ekifo kya ssentebe wa Kayunga district oluvanyuma lwókufa kwa Ffeffekka Sserubogo, Museveni bweyali anoonyeza owa NRM Andrew Muwonge akalulu, yakawangamula naagamba aba NUP nti “Nebwebazina essaawa 24  nga bazinira omuntu waabwe, ebyo byonna bwebiggwa, NRM yesalawo ani awangula“. Era nga bwekyogera okuva ku olwo obululu bwonna obuzze bubaawo owa NRM yalina okulangirirwa.

Ak’e Kayunga Owakakiiko kébyokulanda yalangirira Andew Muwonge nga obweenyi abubisse akakooffira era yava mukifo weyalangirira omuwanguzi amangu ddala awataali naka Kataayi kusala.

#BettyNamboozeBakireke #EliasNalukoola #UgandaLeero #UgandaToday #PhoenixNewsFeeds #OperaNewsFeeds

UgandaToday

UgandaToday is published by CMK Media Solutions. UgandaToday is your trusted source for news and analysis. Partner with Uganda Today where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country. Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Website: https://www.ugandatoday.co.ug WhatsApp: +256 702 239 337 X (formerly Twitter): @uganda43443 | Email: ugandatodayedition@gmail.com P.O.BOX 184351 Kampala. Uganda

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!