Somali Direct Investment Opportunities

Mutabani Wa Nadduli Jakana Nadduli Afudde

Kitaawe Alhajji Abdul Nadduli Yalabula Museveni, Akatambi Kakano Kawulirize.

Mutabani wa eyaliko minista Alhajji Abdulu Nadduli era nga yaliko ne Ssentebe wa Luweero disitulikiti Jakana Nadduli enkya yaleero asangiddwa nga mufu mu makaage e Wobulenzi mu Luweero

Jakana Nadduli abadde muvubuka ateerya ntama era nga ayogera n’enyenje nezigwa nga avumirira lyabadde ayita efuga bbi lya gavumenti ya Museveni.Jakana yavuganyaako ku bwa memba wa palamenti mu Nakaseke disitulikiti, nga ayima mu kibiina kya NRM, naye nga bwegwaali ku ba memba ba NRM mu Buganda wonna, Jakana naye yawangulwa.

Abantu ab’enjawulo Bamukungubagidde

 Ntegedde okufa kwa Jakana Nadduli mutabani wa Alhajji Nadduli. Yawambibwa ennaku ntono emabega, natulugunyizibwa era namala ennaku nyingi nga tamanyiddwa wa gyaali. Mu mweezi ogw’okusatu yagwa ku kabenje keyalowooza nti kaali kateeketeeke abalabebe.- Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine
Tuzukusse okuwulira amawulire agennaku ag’okufa kwa muganda waffe Jakana Nadduli. Ab’omunjuye bagamba nti yasangiddwa mu njuuye nga afudde, ennaku ntono nnyo oluvanyuma lw’okuteebwa okuva mu kaddukulu. Nayogera naye ku lwomukaaga era yawulikika nga ali bulungi. mawulire mabi nnyo.-Davis Lewis Rubongoya
Mu Sebutemba Sulayimani Jakana Nadduli  yawambibwa ab’ebyokwerinda ba gavumenti nga bakozesa emotaka eyentiisa  (Drone) newankubadde nga yali mulwadde era nga atambulira ku miggo, gavumenti yali nsanyufu okumukuumira mu kaddukulu!! Yateebwa ku kakalu ka Kooti sabbiiti ntono emabega, ate kumakya galeero abikiddwa nti mufu!! Kitalo!! –Matthias Mpuuga
Abeyita abannunnuzi kati bawemmenta baana baabwe bennyinni.! Wummula mirembe Sulayimani Jakana Nadduli Junior. – Doreen Nyanjura
Mbadde nsoma n’obwenyamivu buungi ebiwandiiko ebijjudde obulumi obwekitalo. Abantu bamenyese emitima ssi lwa kufa kwa Jakana kwokka naye n’olwokumanya nti bakungubaga olw’okufa okutandibaddewo mukiseera kino. Mukaseera akakazigizigi, omutima gwange gumenyeka olwa Alhajji Nadduli. Nsaba emirembe n’okuwulira okusasirwa bijje gyaali. Wummula mirembe JN!- Remmy Bahati
Alhajji Abudul Nadduli nga akungubagira mutabaniwe Sulayimani Jakana Nadduli
Abo bonna abawamba, nebaggalira abantu mu bumenyi bw’amateeka nebatulugunya abantu, era nebatta banna Uganda balina okuddamu ebibuuzo era bavunaanibwe  olwebikolobero bino. Omuntu yenna ateberezebwa okuzza omusango ateekeddwa okukolebwaako mu mateeka. Bateekwa okukimanya nti omukono omuwaanvu ogunoonya obweenkanya gwakubatuukako amangu ddala oba oluvanyuma!.-  Tuzukuke, Tweggate, Tulumbe, Twetaase!- Kizza Besigye!

Advertising Somali Direct Investment Opportunities

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!