Amawulire
Wuliriza Akatambi: Ebigambo Bya Miria Matembe Ebisuubirwa Nti Byebyamuviriddeko Akabasa, Amakaage Okulumbibwa Am’Amagye
+256 702 239 337: Miria Matembe amakaage gaalumbiddwa olunnaku lwa jjo nga Juni 24, 2026


UgandaLeero: Wuliriza Akatambi: Ebigambo Bya Miria Matembe Ebisuubirwa Nti Byebyamuviriddeko Akabasa, Amakaage Okulumbiwa Am’Amagye
Mukyala Miria Matembe nga ono amanyiddwa nnyo nga omukyala ateerya ntama nga era yaliko minista wémpisa mu gavumenti ya Museveni, gyebuvuddeko katono, yavumirira nnyo okutyoboola eddembe lyóbuntu ebikolebwa CDF Muhoozi Keinerugaba.
Matembe awataali kuluma mu bigambo yayatulira Muhoozi nti bwaaba ayagala ajje amukwaate. Amagye nga ojjeeko okutwaala ebintu omuli ebyémpuliziganya ebyamasanyalaze, tebalina muntu gwebaakutte. Bba wa Miria Matembe mwami Nekemeya Matembe yesangiddwa awaka. Wetuwandiikidde eggulire lino nga tetunnamanya mayitire ga mukyala Matembe.




