Amawulire

Wuliriza Akatambi: Ebigambo Bya Miria Matembe Ebisuubirwa Nti Byebyamuviriddeko Akabasa, Amakaage Okulumbiwa Am’Amagye

+256 702 239 337: Miria Matembe amakaage gaalumbiddwa olunnaku lwa jjo nga Juni 24, 2026

Ekifanaanyi kino kijjiddwa mu Katambi ka video akalaga Miria Matembe nga ayogerako nómukutu gw’amawulire. Wansi Muhoozi yali ateekebwaako cepe mukyalawe Charlotte Muhoozi.

UgandaLeero: Wuliriza Akatambi: Ebigambo Bya Miria Matembe Ebisuubirwa Nti Byebyamuviriddeko Akabasa, Amakaage Okulumbiwa Am’Amagye

Mukyala Miria Matembe nga ono amanyiddwa nnyo nga omukyala ateerya ntama nga era yaliko minista wémpisa mu gavumenti ya Museveni, gyebuvuddeko katono, yavumirira nnyo okutyoboola eddembe lyóbuntu ebikolebwa CDF Muhoozi Keinerugaba.

Matembe awataali kuluma mu bigambo yayatulira Muhoozi nti bwaaba ayagala ajje amukwaate. Amagye nga ojjeeko okutwaala ebintu omuli ebyémpuliziganya ebyamasanyalaze, tebalina muntu gwebaakutte. Bba wa Miria Matembe mwami Nekeya Matembe yesangiddwa awaka. Wetuwandiikidde eggulire lino nga tetunnamanya mayitire ga mukyala Matembe.

UgandaToday

UgandaToday is published by CMK Media Solutions. UgandaToday is your trusted source for news and analysis. Partner with Uganda Today where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country. Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Website: https://www.ugandatoday.co.ug WhatsApp: +256 702 239 337 X (formerly Twitter): @uganda43443 | Email: ugandatodayedition@gmail.com P.O.BOX 184351 Kampala. Uganda

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!