Emyaaka 37 Egya NRM Bannansi Baganyuddwa?

Abe Luweero Beyaguza Lujo, Era Bekkokkola NRM

Olwaleero nga 26.01.2023 lwegize emyaaka 37 bukya bukulembeze bwa NRM nga bukulemberwa Yoweri Tibuhaburwa Museveni buwamba buyinza nga babujja ku gavumenti ya Tito Okello Lutwa eyali ammammuddeko gavumenti ya Milton Obote mu 1985.
Saabaminista Robinah Nabbanja attudde ku Katebe ne Minista w’ebyettaka Nabakooba (owokusattu ku Kono) nga begasse ku Bakyala be Kakumiro okuwaaba amatooke nga betekeratekera omukolo gwokujjaguza nga bweguweze emyaaka 37 nga Pulezident Museveni ne NRM bakulembera e Ggwanga.

Gavumenti eriko kati okuva mu 1986, omukulembeze waayo, Museveni yali yetaba mu kalulu ka 1980, bannansi kebawakanya nti kaali kabbiddwa Paulo Muwanga nalangirira munywanyiwe Milton Obote mukifo kya Paulo Kawanga Ssemogerere eyali akawangudde.

Akalulu kano, kaali ketabiddwamu Kawanga Ssemogerere owa DP, Milton Obote owa UPC, Mayanja Nkangi owa CP, ne Yoweri Museveni owa UPM era nga ono yeyakwebera mu kalulu ako.

Amangu ddala nga akalulu akakubwa mu gwe 12, 1980 kakaggwa, mu gw’okubiri 1981, Museveni yakunga abavubuka banne abalala 26 bonna awamu nebawera 27, nebagenda balumba Kabamba barracks nebanyaga emmundu nebesogga ensiko mu Luweero okulwanyisa gavumenti ya Milton Obote eyali etutte obuyinza nga babbye bubbi kalulu. Olutalo lwabatwalira emyaaka 5 okuluwangula, nga Museveni amaze okumattiza, kati Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, mukiseera ekyo eyali omulangira era Ssabataka eyali alindiridde okulya Obuganda, nti yetabe mu lutalo olwaali luzingamya ate nga abantube abaali balusudde obuba baali bayitirivu.

Ssaabasajja nga asubiziddwa okuzzaawo obwa Kabaka bwe obwaali busanyiziddwaawo Milton Obote bweyalumbu olubiri lwa Ssekabaka Muteesa e Mengo mu 1966.

Advertising Toyota Vigo

Omulangira Ssabataka Ronald Muwenda Mutebi yakiriza, najja neyetaba mu lutalo olwaali lulemeredde Museveni mu Katonga. Ssaabasajja bweyakunga abantube, okwenyigira mu lutalo bonna Olutalo lwawangulwa amangu ddala.

Biki NRM byeyasuubiza?

Enyingo 10 zeyali erina okutambulizaako obufuzi bwaayo era nga zeziino:

Luweero triangle nga bwemanyiddwa, terina luguudo nalumu lwa kolasi nga ojjeeko olwa Kampala Gulu oluyita obuyissi mu Luweero!

Omubaka wa Nakaseke  Central Allan Mayanja mwenyamivu nnyo nti okuziimba enguudo olwa Luweero-Butalangu- Kiwoko n’olwa Kapeeka-Kituuma zijja ziteekebwa mumbalirira yabuli mwaaka, naye tewaali lwaali lukoleddwa!

Aba UNRA basuubiza nti zijja kolebwa mu mwaaka gw’ebyensimbi guno 2022/2023 nga baali bakutandika mu mweezi guno, naye nabuli kati tewali kyatandikiddwaako!

Wano omubaka wansinziidde nalangirira nga bwajja okukunga abantu baakikirira bekalakaase nga balwanirira okufiibwaako mu byenkulakulana.

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!