Katumba Wamala Asimattusse Amasasi Muwala We Alusuddemu Akaba

Generali Edward Katumba Wamala abadde minisita mu gavumenti ya Generali Yoweri Tibuhaburwa Museveni eyakagwaako kumakya ga leero, bamutamanya ngamba bazinze motoka ye bwabadde egenda okuziika omukadde amuzaalira omukyala.

Mu motoka eno abaddemu ne muwalawe Brenda Nantongo atalusimattusse bwakubiddwa amasasi agamutiddewo awamu ne dereva wa kitaawe Haruna Kayondo ku luguuddo oluyitibwa Kisota nga onotera okutuuka ku nkulungo y’oluguudo mwasa njala eye Kisaasi Ntinda.

Generali Edward Katumba Wamala nga yakagigibwa mu motoka nga abazigu bakamulumba

Omukuumiwe yalwanye bwezizingirire nga agudde kumukamaawe obutayongerwa kukubibwa masasi naye nakuba abazigu Amasasi era omu kubo yabuuse nebisago nga tebanaba kudduka kuva mukifo webalumbidde generali Katumba.

Katumba yaddusiddwa nga ali bodaboda nomukuumiwe mukalwaliro okumpi awo nafuna obujanjabi obusooka era oluvanyuma yagiddwaawo natwaliibwa ku Medipal Hospital eKololo gyakyajanjabirwa.

Advertising

Katumba obutafanaganako nabakungu ba gavumenti abazze batirimbulwa abazigu mungeri yeemu gyebayagadde okutta Katumba nga batambulira ku bodaboda, abadde namukisa okufuuka kawonawo.

Banne omuli eyali omulamuzi era omwaabi wa gavumenti Joan Kagezi, AIP Fred Kaweesi, Muhamed Kirumira ne eyali omubaka mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu ne bammaseka abawera bo tebalutonda!

Katumba nga atusiiddwa mu ddwaliro nga ayogera mu Lungereza yategezezza abamawulire nti “God has given me a second chance, I have survived but my daughter has died, pray for Mrs Katumba” ekivunulwa nti Katonda ampadde omukisa gwokubeerawo ogw’okubiri, nduvunuse, naye kyannaku nnyo nti muwala wange bammusse! Musabire nnyo mukyala wange.

Kusinziira ku mwogezi wamagye Brigadier Byekwaso yategezezza bannamawulire nti muwala wa Generali Edward Katumba Wamala wakuziikibwa kubigya byabajjajjabe kulwokuna lwa Sabiiti eno.

Katikkiro wa Buganda yenyamidde nnyo olwokufa kwabantu mu Ggwanga ate abatemu nebatakwatibwa.

Ye amukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu asabye gavumenti esse ennyo essira mukutebenkeze eGgwanga mukifo kyokutuntuza abali ku ludda oluvuganya.

Related Articles