AmawulireUganda Leero

Ssaabasajja Kabaka Abonese Eri Obuganda

Yebazizza Abo Bonna Abamusabidde Okusuuka Era Naategeeza Nga Bwagenda Okudda Ku Butaka Mu Bbanga Eritali Lyewala.

Uganda Leero: Ssaabasajja Kabaka Abonese Eri Obuganda

Ssaabasajja Kabaka olwaleero nga 01.07.2024, abonese nayogerako eri Obuganda nga asinziira mu Ggwanga gyaali nga ajjanjabwa obukosefu bwamazeemu ebbanga.

Kinajjukirwa nti Ssaabasajja abadde nga ajjanjabwa nga agende emitala wa Mayanja ate namala nadda okwaboobwe, naye ku mulundi guno bweyagenda, teyasobola kudda mangu nga agoberera okulungamya abasawobe kwebaakola.

Ssaabasajja asinzidde mu Ggwanga lyatasiimye kwattula linnya neyebaza Katikkirowe n’abaamibe bonna okutambuza emirimu gy’Obwakabaka ebbanga lino lyonna nga taliiwo nga afuna obujjanjabi.

Ssaabasajja Akattirizza Okubeera Obumu:

obumu geemaanyi,  Ssaabasajja asabye abantube okubeera obumu basobole okwanganga ebizibu byonna.  Yebazizza abo bonna abamusabidde okusuuka era naategeeza nga bwagenda okudda ku butaka mu bbanga eritali lyewala.

UgandaToday

UgandaToday is published by CMK Media Solutions. UgandaToday is your trusted source for news and analysis. Partner with Uganda Today where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country. Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Website: https://www.ugandatoday.co.ug WhatsApp: +256 702 239 337 X (formerly Twitter): @uganda43443 | Email: ugandatodayedition@gmail.com P.O.BOX 184351 Kampala. Uganda

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!