AmawulireUganda Leero

Kooti Essalidde Christopher Okello Onyum Omusango gwa Kalabba

Omulamuzi era aweze nga amateeka bwegajja okulondoola abo bonna Okello beyakisa ate nga baali mabega wa lukwe lw'okutta abaana.

Abantu nga bajjaganya oluvanyuma lw’Omulamuzi okusalira Okello ogw’okufa olw’okutta abaana abana e Ggaba

UgandaLeero: Kooti Essalidde Christopher Okello Onyum Omusango gwa Kalabba

Omulamuzi Alice Komuhangi, abadde awulira omusango guno okuviira ddala nga 9, 04, 2026 assalidde omuwawabirwa Christopher Okello Onyum  awanikibwe ku Kalabba nga asala omusango ogwamuggulwaako ogw’okutta abaana abana e Ggaba.

Omulamuzi ayasanguzza nti Okello tabaddeko nakwenyamira kwonna eri abazadde ba baana okuli n’omukyala omu eyazirika nga awa obujulizi ku kuttibwa kw’omwaanawe. Abantu ababadde mu Kooti bajjaganyiza olw’okusalawo kw’omulamuzi kuno.

@cbsfm

Christopher Okello Onyum asindikiddwa ku kalabba, laba essanyu ly’Abatuuze. #fyp #fyp #fyp

♬ original sound – cbsfmug

Omulamuzi era aweze nga amateeka bwegajja okulondoola abo bonna Okello beyakisa ate nga baali mabega wa lukwe lw’okutta abaana. bano omulamuzi agambye nti baakuwenjebwa nabo babitebye mu Kooti.

Omulamuzi agaanyi okwewozaako kwa Okello nti alina ekikyaamu ku mutwe naagamba nti Okello ono singa yalina ekikyaamu ku bwongo, teyandisobodde kugenda naapangisa motoka era neyevuga okutuuka e Ggaba gyeyattira abaana.

#UgandaLeero #UgandaToday #AliceKomuhangi #ChristopherOkelloOnyum #Ggaba #Kalabba

Publisher

Uganda Today

Published by Uganda Today, your trusted source for news and analysis. Let’s help you grow your brand and keep your audience informed.


Partner with Uganda Today where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.


Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk


WhatsApp: +256 702 239 337


X (formerly Twitter): @uganda43443 |


Email: ugandatodayedition@gmail.com

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!