AmawulireWulira Bino
Abayimbi Ba Kwaaya Y’Obulabirizi Bw’e Namirembe Banajjukira Ssekabaka Muteesa I Eyayita Abamisani
+256 702 23 93 37: Kwaaya Enoonya Obukadde 120 Okugula Bbaasi

UgandaLeero: Abayimbi Ba Kwaaya Y’Obulabirizi Bw’e Namirembe Banajjukira Ssekabaka Muteesa I Eyayita Abamisani



Abayimbi Ba Kwaaya Y’Obulabirizi Bw’e Namirembe Banajjukira Ssekabaka Muteesa I Eyayita Abamisani
Bya Sebuliba Hannington
Ku Ssande nga 22 November 2026 akasozi Namirembe kakuwuuma nga Kwaaya y’Obulabirizi (Namirembe Diocesan Choir) bayimba ennyimba ez’ebiro by’okujja kwa Kristo (Advent Carols).
Mu kuyimba ennyimba zino bataddemu akanyoomero ak’okujjukira Ssekabaka Walugembe Mukaabya Muteesa I eyayita abamisani okuleeta eddiini kati emyaka 149.

“Ng’Ekkanisa ya Uganda eteekateeka okujaguza jubiri ey’okusatu (emyaka 150) bukya njiri ya Kristo etuuka mu Uganda, twagadde ffe tutandike nga tujjukira Kabaka Muteesa eyayita abasomesa b’eddiini” James Mulimira Kasasa nga ye muyimbisa wa Choir eno bwe yagambye era nayongerako nti “tugenda kuyimba oluyimba ‘Ajjukirwenga Ssekabaka Muteesa’ olwayimbibwa mu 1977 ng’ekkanisa ejaguza emyaka 100. Twagala lututeeke mu mmuudu y’ebijaguzo eby’emyaka 150”
Ssentebe wa Choir eno Jackson Mukisa Ayita Abantu Bonna Okujja
Ye Ssentebe wa Choir eno Jackson Mukisa, yagambye nti ennyimba ez’omwaka guno za njawulo nnyo kubanga bazongeddemu ssamuli n’akatungulu. “Mujje mulabe ekyo kyetubadde twegomba ku kwaaya z’abazungu nga bayimba n’ebyuma ebya ochestra” bweyategezezza. Yagambye nti ku luno baakwataganye n’abakubi b’ebivuga abamanyiddwa nga bivuga sinfonia era ku luno ennyimba zijja kuba za njawulo. Era yabategeezezza nti n’ennanga ya Lutikko tejja kubulako nga anaabeera mu mitambo ye Paul Luggya.

Kwaaya eno yatandikibwawo mu 1995 Omulabirizi w’e Namirembe omugenzi Rt. Rev. Balagadde Ssekkadde ng’ekirooto kye kwaali kufuna kwaaya y’Obulabirizi erimu abayimbi abasoba mu 600.
Abayimbi mu kwaaya eno baba mu makanisa gonna agasukka mu 700 agali mu Bulabirizi bw’e Namirembe. Omulabirizi w’e Namirembe ye Patron wa Choir eno.
N’olwekyo, Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Moses Banja ayita abantu ba Katonda mwenna ku Sunday eno nga 22 November 2026 okujja ku Lutikko e Namirembe ku ssaawa kkumi ez’olweggulo okubaawo ng’abajulirwa ng’ebyafaayo bikolebwa.
Kwaaya Enoonya Obukadde 120 Okugula Bbaasi
Mu kiseera kino kwaaya eri mu kunoonya obukadde 120 okugula bbaasi eneeyamba okuliikiriza kwaaya eyo awamu n’okugitambuza ng’erina gyegenda okuweereza. Kale basaba abantu ba Katonda mwenna ab’omutima omulungi ogwagaliza kwaaya eno okugenda mu maaso okuwaayo n’omutima gumu.

Mu 1875 omuzungu mu nnamawulire era omuvumbuzi Henry Morton Stanley, yasanga Muteesa mu Lubiri lwe e Lubaga era n’amubuulira ku njiri ya Kristo. Muteesa naye teyalwa n’abaka ekkalaamu n’olupappula ng’asaba Kabaka w’e Bungereza Naabakyala Victoria okusindika abasomesa ab’eddiini bajje batulyoowe emyoyo.
Ebbaluwa ng’emaze okufulumira mu lupapula lwa Daily Telegraph e Bungereza, aba Church Missionary Society baaweereza abasomesa b’ediini era nga 30 June 1877, baatuuka mu Buganda nga kuno kwaliko Rev. C.T. Wilson ne Lt. Shirgold Smith oluvannyuma mu October w’omwaka gwe gumu Alexander Makaayi yabeegattako natandika ekkanisa e Nateete. N’olwekyo omwaka ogujja ekkanisa ya Uganda legendary okujaguza naye nga baatandika omwaka guno nga agenda okusimba emiti obukadde kkumi na butaano okusobola okulwanyisa ekyeeya n’eddungu.
Emikolo gy’okujaguza emyaka 150 gyakwasiddwa Ssettendekero wa Uganda Christian University (UCU) era nga gijja kuyindira ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugongo nga 3 June 2026.



