Biki Ebifa Ku Mukyala Ow’endagaano Y’emwanyi Ze Ggwanga

Nga Akyalemereddwa okutuukiriza Okuzimba eddwaliro, Ate Kati Yewereddwa Kutunda Mwaanyi

Omukyala Enrica Pinneti owa Vinci Coffee Company Limited, eyaweebwa omulinu gw’okutunda emwanyi za Uganda, ye omu yennanyinni Kampuni, era emabegako awo eyaweebwa ensimbi ze Ggwanga nga zigendereddwaamu okuzimba eddwaliro eryomulembe e Lubowa Kampala.

Kino okusinziira ku gavumenti, kyaali kigendereddwaamu okufuna omuganyulo okuzza ensimbi ezisaasanyizibwa ku banna Uganda naddala abakungu ba gavumenti abawerezebwa ebweeru ku butitimbe bw’ensimbi z’amawanga ag’ebweeru.

Ebye Ddwaliro biyimiridde bitya?

Eddwaliro mmye!

Advertising Toyota Vigo

Abange mwenna gyemuli, eddwaliro liri lyebazimba ku luguudo oludda Entebbe mmye! Teriliiyo. Byonna byeboogera bya kutugumaaza ng’ente esula ku kyooto. Byooya bya nswa. Tukuuma lubugo, lubaale mubbe

Bweba ngege, bagiryamu dda amaaso kati yonna kiwowongole. Baagikeketa dda ennyama ku magumba, kati nago baganonye bagamekete. Bano bajoozi ba bbaluwa.

Kino n’omwana omuwere akitegeera nti omukazi omuYitale n’abamuli emabega bakumpanya, bafere, n’ekitongole kya Finasi kyeboowogomyemu nakyo kikwangala.

Baatugamba mu 2019 nti eddwaliro bajja kulizimba liggwe mu myaka 2 gyokka. Emyaaka bwegyayita ne beekwasa ekirwadde kya kovidi nti kyataataganya emirimu gyabwe. Beerabira nti abaali bazimba mu biseera bya kovidi baasigala bakola. Olwo nebasaba babongeremu akadde betereeze.

Abakumpanya abo bakaweebwa ensimbi obuwumbi kumpi 400 (400,000,000,000 oba ddoola z’America obukadde obusoba mu 112)?

1. Nga 12 omwezi ogw’okuna 2021 baweebwa obuwumbi 76 n’obukadde 300 (76,300,000,000)
2. Nga 12/7/2021 baweebwa obuwumbi 77 n’obukadde 600 (77,600,000,000)
3. Nga 12/10/2021 baweebwa obuwumbi 78 n’obukadde 800 (78,800,000,000)
4. Nga 10 omwezi ogw’oluberyeberye 2022 baweebwa obuwumbi 82 (82,000,000,000)
5. Nga 11/04/2022 baweebwa obuwumbi 84 n’obukadde 200 (84,200,000,000)

Wabula ekijja enviiri ku mutwe, eddwaliro lyakoma ku musingi era ebifaanyi byoleka bulungi emitayimbwa egittalaze, tewali yadde kisenge kiyimiridde oluvannyuma lw’emyaka ebiri n’omusobyo okuyita.

Tubadde tukyetakula emitwe minisita oli eyayogera wa ebyensimbi ng’avaayo jjojjuuzi okusaba ababaka ba paalamenti bakkirize omukazi omuYitale aweebwe obuwumbi obulala 319 (319,000,000,000) amalirize eddwaliro.

Ababaka baakombye kw’erima, nebamulagira abaamuke mu bwangu, abalaatire muli ng’owekiwalaata akkirira mu kibira, avenga nnyini, ob’oly’awo alowooza nti ababaka tebalina magezi.

Yeekandagga n’abaanukula nti ensimbi bwebatazimuwa, Eggwanga lyolekedde akatyaabaga. Baamutemye  nebakwatamu ebyanguwa bamuviire mangu, talwa kubasuula ddalu. Kigambiwa nti omukyala ye omu ono anonyezeebwa ab;obuyinza mu Chad beyanyagako obutitimbe bw’ensimbi nga abasuubizza okuzimba kampuni eko;a eddagala mu nsi eyo. Bino abakkessi bakuno babitegeeza omukulembeze we Eggwanga nabisambajja.

 

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!