Ssaabasajja Kabaka Awezezza 69
Ronald Kimera Muwenda Mutebi II Yazaalibwa Nga 13 Kafuumuulampawu 1955 Ye Kabaka Wa Buganda Owa 36.
Uganda Today Edition: Obwakabaka bwa Buganda obwazzibwaawo oluvanyuma lwe emyaka 27 wansi wa Muza Ngoma, Ssaabasajja Kabaka Mutebi, buttutte obukulembeze obwesigamye ku nkulakulana omutali kuwugulwa. Obukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka bulambise okugenda mu mumaaso mu Buganda n’abantu ba Buganda mu mbeera yonna ey’ebyobulamu bwa bantu ba Kabaka.
Wansi wa Ssaabasajja, Buganda erambise era netandulula ebigere munkola eyanjawulo mu byenjigiriza, eri bantu ba Ssaabasajja bonna nga aziimba amasomero, okusomesa abayizi nga ayita mu Kabaka Bbasale nokulaba nti buli mwaana wa Buganda afuulibwa ekyo kyasobola okukola.
Okutumbula eby’enfuna kibadde omulamwa omukulu eri Ssaabasajja nga anoonyeza Obwakabakabwe ab’emikago egyobusuubuzi nekigendererwa okuzza Buganda kuntikko nga abantu bonna bafuna emirimu.
Nga Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ajaguza okuweza emyaka 69th, yemummuli era essuubi eri abantube . Ebintu byatandikiddewo abantube, nga akabonero akenkunkunala eri obukulembezebwe.
Ebyafaayo N’obuzaale Bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi
Ronald Kimera Muwenda Mutebi II yazaalibwa nga 13 Kafuumuulampawu 1955 ye Kabaka wa Buganda owa 36.
Yalondebwa okuba omubaka ow’omwooyo omulungi w’ekitongole kye Nsi yonna ekilwanyisa ekirwadde kya Mukennenya UNAIDS mubuva Njuba n’Amaserengeta ga Ssemazinga Africa nga essira alitadde mu Uganda.
Obwakabakabwe bwatandika mu Kasambula 31, 1993 – Okutuusa kati)
Yazaalibwa mu Ddwaliro e Mmengo nga 13 Kafuumuulampawu 1955. Mutabani wa Ssekabaka Sir Edward Frederick William David Walugembe Mutebi Luwangula Muteesa II, eyafuga Buganda, wakati wa 1939 ne 1969. Nyina ye Nabakyala Sarah Nalule, Omuzaana Kabejja, eyeddira Enkima.
Yasomera Budo Junior School, King’s Mead School mu Sussex ne Bradfield College, essomero lya gavumenti ya Bungereza West Berkshire. Bweyava eyo, naayingira Magdalene College, Cambridge. Nga wa myaka 11, yalondebwa Kitaawe okuba omulangira anaalya Obwakabaka nga 6 Muwakanya 1966. Nga ali mubuwanganguse, yakolako nga Omusunsuzi w’amawulire mu Katabo ka African Concord era yali mubaka ku Lukiiko olufuzi olwa African National Congress (ANC) mu London. Nga 21 Museenene 1969, oluvanyuma lwokukisa omukono kwa Kitaawe, yafuuka omulangira eyali alindiridde okulya Obwakabaka.
Yadda Mu Uganda mu 1988, oluvanyuma lwokusuuza Obote II obuyinza bw’omukulembeze bwa Uganda obwaali buzze mu mikono gya Tito Okello Lutwa. Yalambula e Buddo nga 24 Kasambula 1993 oluvanyuma lw’okuzzaawo Obwakabaka mu Uganda. Nga 31 Kasambula 1993, yatuuzibwa ku Namulondo yabajjajjaabe e Buddo. Era kati ye Ssaabasajja Kabaka wa Buganda omujjuvu era Embuga y’obwakabakabwe eri mu Bulange e Mmengo”.
Obulamu Bwa Ssaabasajja
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yawasa Nnabagereka Sylvia Nagginda, nga 27 Muwakanya 1999 ku Kannisa Lutikko y’omutukuvu Paulo e Namirembe, mu Kampala.
Abaana b’engoma beebano
- Omulangira (Kiweewa) Savio Muwenda Juunju Suuna. Eyazaalibwa mu 1986 mu London, mu Bungereza era nga Nyina ye Muzaana, Vénantie Sebudandi. Yasomera King’s College, Budo, gyeyava nadda e Bungereza okutwaala mumaaso emisomo gye.
- Omumbejja Joan Nassolo.
- Omumbejja Victoria Nkinzi.
- Omumbejja Sarah Katrina Mirembe Ssangalyambogo Nachwa. Yazaalibwa mu 2001 mu London, Bungereza.
- Omulangira Richard Ssemakookiro. Yazaalibwa mu 2011. Yayanjulirwa Obuganda nga 17 Gattonya 2012 eyali Katikkiro wa Buganda, John Baptist Walusimbi, eyakakkasa nti Nyina ye Muzaana ow’Enseenene Rose Nansikombi okuva mu Ssaza lya Ssaabasajja erye Bulemeezi Luweero District.
Obuvunanyiizibwa Obulala.
Nga 15 Kafuumuulampawu 2011, Ssaabasajja yatwaala obuvunaanyizibwa bwokuba Cansala wa Ssetendekero Muteesa I Royal University. Ssetendekero Ssaabasajja yagitandikawo mu 2007 nagibbula mu Jjajjaawe Muteesa I, olwokuleeta ekitangaala kyokusomesebwa mu Bwakabaka bwa Buganda n’obutetenkanya obwawaggulu wakati mukuyingirirwa Abangereza, Abafalansa n’Abawalabu mu myaka gya 1800.
Nga Kabaka wa Buganda Ssaabasajja, yemulungamya ow’okuntikko ow’ekitongole kye Nkuluze ekirabirira ebitongole byonna ebiri wansi w’Obwakabaka bwa Buganda.
- Buganda Land Board, bano bavunaayizibwa ku Ttaka n’ebintu ebirala ebigwa mu kkowe eryo mu Bwakabaka bwa Buganda.
- K2 Telecom – Kino kitongole kya byampuliziganya.
- BBS Television – Eno Ye Terefayina y’Obwakabaka.
- CBS FM eno ye Ladiyo y’Obwakabaka
- Majestic Brands – Bano bakola kunteekateeka y’emikolo mu Bwakabaka n’okutunda ebintu ebikolebwa Obwakabaka.
- Omwenge Engule Beer Nga bakolagana ne Uganda Breweries
- Muganzirwazza Plaza – Kino kizimbe kyabyabusuubuzi e Katwe
- Ekizimbe Masengere – (Kino mwemuddukanyizibwa emikutu gy’ebyempuliziganya CBS ne BBS Terefayina.
Obuzaale Bwa Ssaabasajja Kabaka
Ronald Muwenda Mutebi Kabaka wa Buganda owa 36, yazaalibwa Ssekabaka Sir Edward Muteesa era yazaalibwa nebanne bano wammanga: Abalenzi 14 n’Abawala 9
- Omulangira Kiweewa Luswata. Omulenzi omukulu wa Ssekabaka Muteesa II. Yazaalirwa Wakiso. Yabeeranga era yasomera Bufalansa. Yazaama mu gye 1990 era naterekebwa e Kasubi mu Masiro, Nabulagala.
- Omulangira Robert Masamba Kimera, Nyina yeyali Nesta M. Rugumayo. Yazaalirwa mu Kampala mu 1950.Yasomera mu St. Mary’s College Kisubi ne King’s College Budo namalira e Canada. Yasoma bya Njazi era yakolerako mu kitongole ekikola ku by’Enjazi mu Swaziland wakati wa 1980 ne 1983. Yasomesaako mu Nakawa Vocational School from 1991 okutuusa 1992. Okuva mu 1993, mutuuze e Canada.
- Omulangira David Francis Ssuuna Kayima Ssezzibwa. Yazaalibwa mu Kitovu Masaka. Nyina ye Omuzaana Mary Nabweteme ow’Emmamba. Yasomesaako eby’obwongo era yazaamira e Denmark naziikibwa mu Masiro ge Bugembegembe mu Wakiso.
- Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, Nyina ye Nnabagereka ow’okubiri owa Ssekabaka Muteesa Sarah Nalule.
- Omulangira Frederick Wampamba Ssuuna, Nyina ye Edith Kasozi. Yali muvuzi wa Nyonyi era Commissioned Officer eyatongozebwa mu Ugandan Air Force. Kigambibwa nti yattibwa ku biragiro bya Idi Amin e Bombo in 1972. Yaterekebwa mu Masiro e Kasubi Nabulagala.
- Omulangira Henry Kalemeera, Nyina ye Damali Nnakawombe. Yasomera King’s College, Buddo ne Addis Ababa University, Ethiopia. Yasoma bya aeronautical engineer. Atuula mu United States. Era akola nga flight engineer mu American Airlines.
- Omulangira George Michael Ndawula, Nyina ye Muzaana Nalwoga.
- Omulangira Joseph Ndawula, Nyina ye Muzaana Nzera Nabakooza. Awereeza mu kitongole kya Uganda kunsonga z’ebweeru era akola nga omubaka wa Uganda mu Uganda’s High Commissioner e Namibia
- Omulangira Richard Walugembe Bamweyana, Nyina ye Sarah Nalule. Yazaalibwa 1956, yasomera mu Achimota School,e Ghana, era nakolera mu kitongole ekikola ku misono n’okulanga eby’amaguzi. Yazaama mu gye 2000. Yaziikibwa mu Masiro e Kasubi Nabulagala.
- Omulangira Katabaazi Mukarukidi, Nyina ye Damali Nnakawombe. Muvuzi wa Nyonyi e Nigeria.
- Omulangira Patrick Nakibinge, Nyina ye Sarah Nalule. Yazaama mu gye 2000 era n’aziikibwa mu Masiro e Kasubi Nabulagala.
- Omulangira Daudi Golooba. Yasomera King’s College Budo ne Makerere University. Mubalirizi wa bitabo era mubaka omutandisi wa Buganda Heritage Association mu Bungereza (UK) ne Ireland (kyeyatandikawo 1998). Mutuuze e Bungereza UK.
- Omulangira Herbert Kateregga, Nyina ye Kaakako Rwanchwende. Mutuuze e Bungereza UK.
- Omulangira Fredrick Mawanda Mutebi. Yazaalibwa mu 1965 Omuzaana Specioza Namagembe. Yazaama era yaterkebwa e mu Masiro e Bugembegembe mu Wakiso.
- Omulangira Daudi Kintu Wasajja, Nyina ye Winifred Keihangwe. Yazalirwa mu Kampala m Muzigo 1966, nga Ssekabaka adduse mu Uganda. Yasomera mu University of Nottingham mu Bungereza UK, nakuguka mu Bachelor of Arts. Yakolako nga executive underwriter mu Pan World Insurance Company era nakola nga regional retail manager mu Celtel (Uganda) Limited (kati Airtel Uganda Limited). Mubaka ku kakiiko ka Buganda Land Board, Kabira Country Club, Hash Harriers Athletic Club, n’ebitongole ebirala. Abeera mu Kampala
- Omumbejja Dorothy Kabonesa Naamukaabya Nassolo, Nyina ye Damali Nakawombe. Yazaalirwa Mengo mu Lubiri mu 1951. Yasomera mu University of Nairobi. Abeera mu Kampala.
- Princess (Omumbejja) Dina Kigga Mukarukidi, whose mother was Beatrice Kabasweka. She works at the headquarters of the African Union in Addis Ababa, Ethiopia.[19]
- Omumbejja Anne Sarah Kagere Nandawula, Nyina ye Kate Ndagire. Yazaalirwa Mengo in 1951.
- Omumbejja Catherine Agnes Nabaloga, Nyina ye Kate Ndagire. Ye Nnaalinya Lubuga wa mwanyina Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, Kabaka wa Buganda,okuva 1993. Omumbejja Nabaloga wa Buganda Heritage Association mu Denmark, kyeyatandika mu 1998. Yasoma bya Doctor of Philosophy degree in linguistics.
- Omumbejja Alice Mpologoma Zaalwango, Nyina ye Edith Kasozi. Yazaalibwa mu 1961. Yasomera Gayaza Junior School, Kibuli High School, ne Makerere University. Yafiira Pretoria, South Africa olwa Kokolo wa’Amabeere nga 23 March 2005. Yaterkebwa mu Masiro e Kasubi.
- Omumbejja Stella Alexandria Sserwamutanda Ndagire. Yazaalirwa e Nairobi, Kenya. Nyina ye Zibiah Wangari Ngatho, yakulira mu Kampala ne Nairobi. Mutuuze mu Atlanta, Georgia, U.S
- Omumbejja Jane Mpologoma Nabanakulya. Yazaalirwa e Sunga mu, Buyaga mu, Bunyoro-Kitara , nga 12 kafuumuulampawu 1964. Omuzaana Naome Nanyonga ye Nyina. Mu 2003, yagenda e London, Bungereza, gyabeera ne Bba David Segawa Mukasa.
- Omumbejja Gertrude Christine Naabanaakulya Tebattagwabwe. Yazaalirwa Mengo Hospital nga 20 Muwakanya 1964. Nyina ye Margaret Nakato owe Nkumba, Busiro. Yabeera mu Uganda okuuka ku myaka 9, nadda e London, Bungereza gyeyakugukira nga omubazi w’ebitabo. Yakomawo mu Uganda mu 2013.
- Diana Balizzamuggale Teyeggala. Ye Muggalanda wa Ssekabaka Muteesa. Yazaalirwa Kampala mu October 1966, nga Ssekabaka ali mubuwanganguse. Nyina ye Catherine Karungu, Omumbejja okuva Ankole. Teyeggala teyalaba ku Kitaawe. Abeera muKampala.