Police Y’eKyabadaaza Nayo Erumbiddwa
Eyokeddwa, Babiri Battiddwa
Obulumbaganyi Ku Puliisi N’ebitongole By’okwerinda Ebirala Byeyongera Buli Lukya
Abazigu balumbye poliisi e Kyabadaaza Butambala nebagiteekera omuliro!
Abazigu bano basasidde amasasi okukkakkana ng’abantu babiri babasse okubadde nomwana abadde yakatuula ebigezo bye ebya S.4.
Ensangi zino abazigu beesomye okukola obulumbaganyi ku poliisi nebabba n’emmundu.
Kigambibwa nti bano abalumbye ey’e Kyabadaaza babadde bagenze kununula bannaabwe abaabadde bakwatiddwa era bagenze nabo.
Ab’obuyinza bategeezezza nti batandise okunoonyereza.
Ku lwokusatu lwa sabbiiti eno nga 07.12. 2022 abazigu baalumba omuserikale akuuma ka micro finance Bank e Wobulenzi nebamukuba amasasi agamuttirawo nebakuuna ne mundu gyeyalina.
Ekikyewuunyisa abaangi, nti emirundi gyonna abazigu bano gyebazze bakola obulumbaganyi buno, puliisi erirannyeewo egenda okutuuka nga abalumbaganyi baayokkeza dda omusubi!
Ebikolwa ebyekika kino byaliwo okuva mu 1981 pulezidenti aliko Kati bweyayingira ensiko okumamulako gavumenti ya Obote.
Era jjuuzi wano jjo lyabalamu, generali Kahinda Otafiire yayasanguza nga abayekera baabwe ne Museveni, bwebayambalanga engoye za UPC nebagenda nebatta abantu balowoozesa nti abaserikale ba gavumenti ya Obote bebaali battirimbula abantu!.
Ekyennaku nti obulumbaganyi buno bwonna bubaawo nga butwaliramu obulamu bwaabantu.
Ebikolwa bino bizze bibaawo okuviira ddala ku bbomu ezakubwa ku CPS ne palamenti mu kibuga wakati. Kino kirowozesa abantu nti gavumenti eri kunjegoyego yakulemererwa okukuuma bannansi n’ebyaabwe.