Omukyala Omuzira Wa Buganda Yawumudde
Angelina Nabakooza, Eyakweeka Sir Edward Muteesa Okumala Ennaku 20 Mukama Yamuyise
Mukiwaandiko ekyafulumuzibwa minisita avunaanyizibwa kumpuliziganya mu Bwakabaka bwa Buganda Noah Kiyimba yategeeza nti Nabakooza ye muzira omukyala akyasinze mu Bwakabaka bwa Buganda.
Obwakabaka bwataddewo akakiiko nga kaliko abantu 5 okuteekateeka eby’okuziika omuzira ono mukitiibwa ekimugwaanidde.
Gombolola ye e Mawogola bakyaali mukiyongobero ekyawaggulu olwokufa kwa Nabakooza omuntu abadde asinga obukulu mukitundu kye Sembabule disitulikiti. Leo Kayiwa nga ono muzzukulu wa Nabakooza agamba nti Jjajjabwe abadde mukyala mukozi nnyo asobodde okuyimirizaawo ab’enjuye.
“ Tujja musaalirwa nnyo Jjajjaffe ono, kubanga abadde Lwaazi munju yaffe”. Mwami Kayiwa bweyayongeddeko.
Ate Wamala Kuwatanya Mawogola, omubaka wa Buganda mu Saza ly’e Mawogola mu Lukiiko lwa Buganda omugenzi amwogerako nga omukyala eyaleeta okwenyumiriza mu Buganda olw’okukuuma Ssekabaka wa Buganda. Nabakooza yaleeta ettuttumu mu Sembabule ne Buganda yonna okutwaalira awamu newankubadde nga oluvunyuma lw’emyaaka 3 gyokka, Ssekabaka gweyataasa okufa, yattibwa obutwa obwamuweerwa mu Mwenge, wakujjukirwaanga emirembe gyonna.
Okujjukira Omugenzi Nabakooza
Omuzira ono eyali tamanyiddwa nnyo okutuusa mu 2009 lweyaweebwa ekitiibwa ekisinga okuba ekyawaggulu mu Buganda. Omugenzi Nabakooza abadde omu ku abo abatono ennyo aberabirako n’agaabwe nga Ssekabaka Muteesa atoloka okuva ku Namulondo nga kiva kubulunbaganyi obutaali mumateeka obwamukolebwaako. mu Mayi wa 1966.
Kizaamu nnyo amaanyi nti Ssaabasajja yasiima namugonnomolako ekitiibwa awamu n’abantu abalala mu Buganda.
Mukola kino, Nabakooza yagatta ettofaali mukukola ebyafaayo bya Uganda. Era munsi engunjufu, yandibadde awereddwa omuddaali ogw’obuzira okuva mu gavumenti y’eGgwanga. Erinnya lya Nabakooza lyakusigala mu byafaayo bya Buganda newankubadde nti afudde.
Abadde mubulamu n’obuwangaazi obukola ekyokulabirako. “Wummula mirembe omuzira wa Buganda” Stephen Lwetutte omulwanirizi we ddembe ly’obuntu nga atuula London bweyagaseeko.