Omukyala Omuzira Wa Buganda Yawumudde
Angelina Nabakooza, Eyakweeka Sir Edward Muteesa Okumala Ennaku 20 Mukama Yamuyise
Obuganda Bukungubagidde Omukyala Omuzira Eyakweeka Ssekabaka Sir Edward Muteesa.

Byewetaaga Okumanya:
Okumala ennaku 20, Angelina Nabakooza teyakoma kukubudamya eyali president wa Uganda eyasooka mu Makaage, naye era yamulabirira mubyendya mukiseera kya Ssekabaka ekyakazigizigi.
Angelina Nabakooza, omukyala eyayatiikirira olwokukuuma n’okuzibira Ssekabaka wakati mu katuubagiro akaagwa mu Buganda mu 1966, yafa nga 29/09/2022 nga atemera mu gy’obukulu 109.
Tekyaali kintu mukyala Nabakooza kyeyetegekera okukuuma Saabasajja Kabaka, ebbanga eryo naye yakikola.
Kumakya ga nga 23/05/1966 obukuubagano obwaaliwo wakati wa Ssekabaka Sir Edward Muteesa 11 Ssekabaka wa Buganda eyali owa 35, n’eyali Sabaminista Apollo Milton Obote, bwatuuka ku ntikko oluvanyuma lw’obulumbaganyi ku Lubiri lwa Kabaka e Mengo olwaduumirwa Idi Amin, Ssekabaka Muteesa yasalawo okudduka mu Lubiri.
“Twalowooza nti yali afudde, okumala ennaku 3 oba 4″ Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi Kabaka wa Buganda bweyanyonyola banna mawulire ob’oluppappula lwa Guardian mu 2001.
“Tewali yali amanyi kyaali kimutuuseeko”.
Ekyaaliwo, kyaali nti Ssaabasajja yatandika olugendo oluwaanvu era oluzibu olwamuwaliriza okusooka okubudamako e Lubaga ewa Cardinal Wamala.
Oluvanyuma yavugibwa mu biguudoguudo ebyomunsisiko nga adda mu buva njuba bwa Uganda.
Ssekabaka era Pulezident wa Uganda eyasooka, bweyatuuka e Sembabule, yasalawo okuwummulako. Omu kubayambibe Mumiransanafu, yakakwatagana ne Nabakooza nga amaze n’okulayira nti nebwekuba kuttibwa yali mweteefuteefu naye nga tayatudde nti Ssekabaka yali mu Makaage.
Mukyala Joyce Mpanga, omu ku Baganda abagundiivu yagamba nti nga Ssekabaka Sir Edward Muteesa nga ali ewa Nabakooza, amagye gaatandika omuyiggo ogwokunoonya Kabaka. Kyasalibwaawo nti Ssekabaka ave mu Maka ga Nabakooza, era ave mu Uganda nga ayita e Rwanda ne Burundi. Obote yali amaze okusaawo kavvu wa 25,000/= muziriwo kati bwebukadde 60 eri omuntu Yenna eyali asobola okuwaayo Kabaka okuva gyeyali yekukumye.
“Ssekabaka yalabikako oluvanyuma lwa myeezi ebiri mu Bujumbura Burundi nakolerwa enteekateeka y’entambula okugenda e London mu Bungereza”. Mukyala Mpanga bwanyonyola.
Enyumba ya Nabakooza enkadde ku kyalo Nsambya mu muluka Lwantale gombolola mu Semababule disitulikiti Ssekabaka weyabeera okumala ennaku 20, emyaaka Miingi oluvanyuma yasiigiibwa langi empya nga kino kyakolebwa Obwakabaka bwa Buganda.
Mu March wa 2009, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi yasiima naziimbira mukyala Nabakooza enyumba empya, era naaweebwa n’ekitiibwa eky’amafumu n’engabo ekisembayo waggulu mu Bwakabaka bwa Buganda. Maaki 2009, (Ekitiibwa ky’amafumu n’engabo).
