Omukazi Akyasinze Okuzaalira ku Myaaka Emito
Omwana ow’emyaaka 5 gyoka Lina Marcela Medina De Jurado, nga Sebutemba 23, 1933 yazaala mwaana munne nga mulenzi.
omwaano ono muwala wa Tiburelo Medina ne Victoria Losea abaali abaweesi, bazaala abaana 9 bonna awamu.
Lina Marcela, yazaalibwa ku kyaalo Ticrapo, Castrovirreyna mu Peru South America.
Bazadde be Bwebalaba nga omwaana waabwe agenda agejja olubuto kumyaaka 5, nebamutwaala mu Ddwaliro yekebejjebwe.
Abasawo Lozada ne Busalleu bamwekebejja nebakizuula nti omwaana on yali Ali lubuto lwa myeezi 7. Yatandika okulabirirwa nga abakyala ab’embuto bwebabeera era bweyali awaza emyaaka 5 n’emyeezi 7, yalongoseebwamu mwaana munne (muyite Bebbi) nga mulenzi.
Bazadde b’omwaana muwala ono naddala Kitaawe Tiburelo, kyamubuukako bweyakwaatibwa ab’obuyinza nga ateberezebwa nti yeyali yafunyisa kawala ke olubuto. Kitaawe was kawala Kano yegaana ebyaali bimusibibwaako nga amatu g’embuzi okumuliisa Engo.
Akawala Kano ka Lina, nako kaali tekamanyi Muntu ki eyakafunyisa olubuto, era n’okutuusa gyebuli eno tekamanyi kino gyekatuukako. Kitaawe waako Tiburelo, yegaana omusango gwobuliisa maanyi era ab’obuyinza bamala nebamuyimbula olwokubulwa obujulizi obumuluma kumusamgo guno.
Omwaana omulenzi akawala ka Lina gwekazaala olwokuba yali taliiko kitaawe amanyiddwa, yabbulwaamu erinya ly’omusawo eyakazaliisa Gerardo.
Gerardo yakula era yaweza emyaaka 40 weyafiira nga obulwadde obwamujja kunsi kuno bwaali bwa musaayi ogwomubusomyo ogwalwaala.
Ye Nyina Lina yakula nakola n’asoma ogwobuwandiisi mu Ddwaliro e Lima mu Peru. Yafumbirwa Raul Jurado mu 1970
Omuwala teyayagalira ddala kwogerwaako ku mikutu gyamawulire agamwetayirira okuva munsi yonna nga bagala okumuwa omuddiddi gw’ensimbi basobole okubunuisa amawulire gano n’okumukolamu sineema. Omuwala ono awamu ne bazaddebe bagaana buli kimu, omwaali n’omukisa ogwabaweebwa basenguke okuva mu Peru badde mu America.