Omuganda Okuva Edda Nedda Yali Amanyi Era Nga Asinza Katonda
Nga enjigiriza N'enzikiriza Engwiira Nga Tebinajja Wano Okuva Mu 1822 Obuyisiramu, 1877 Obukulisitayo, 1879 Obukatoliki, Abaganda Basinzaanga Katonda
Bya Katwere Musajjaakaawa
*OGOBERERANGA OBUTUUKIRIVU BWO NG’OJJUMBIRA EBIRAGIRO BY’OMU OYO ASINGIRIDDE (OMWOYO) ASINGA BYONNA: NGA YE DDUNDA, TTONDA, ALLAH, KATONDA*
Abaganda bayigirizanga nti omu oyo (Omwoyo) asinga byonna yakyaawa, era yakoowa abantu abamusabiriza nga tebafaayo kukola namikono gyaabwe lwa nsonga zino wammanga:
1- Yakuwa omubiri oguliko byonna byewetaaga okukola emirimu egikuyimirizaawo;
2- Yakuwa embeera ekwetoolodde, ng’ejudde byonna byewetaaga okulwanirira n’okuwanirira obulamu bwe yakuwa; awamu ne bajjajjabo, bazaddebo, ezzadderyo n’ebanywanyi bo;
3- Yakuwa obwongo okwekennenya ebisaanidde n’ebitasaanidde kukola oba okwogera;
4- Yakuwa amatu, amaaso n’olulimi okuwuliziganya n’ebitonde byonna, okufuna byatakuwa ku mubiri gwo, ate ng’oddizza abo abalina byotolina, era abatalina byolina;
5- Yakuwa empuliriziganya gyaali ku myaaliro n’emitendera; yakuwa obulamu, ng’oteekeddwa okumwebazanga amakungula gotuuseko, era okumugulumiza olw’ekkula ly’obulamu bwo n’abantu bo, ng’okumutendereza olw’ekisa kye, okukuuma, okukuwerekera n’okukulembera ng’akutaasa abalina ettima, obukyayi, empalana, enge, n’obutakwagaliza, ebijjudde mu balabe abangi ddala, naye ng’abamu abo gw’obayita banywanyi bo oba mikwano gyo.
Toyaayaaniranga kukulembera, wabula owulirizanga era n’odduukiriranga n’obudaabuda abalina obwetaavu. Gwe manya nti olw’ebikolwabyo, abantu balikuyitimusa olw’ebirungi n’ebyetaago byogabana n’abo.
Ogumiikirizanga, era obanga mwetowaze, omwesimbu, owamazima, omwenkanya, omukakamu, omuntumulamu, ayagaliza ebitonde byonna. Era tososolanga bakwagala n’abakukyaawa, kubanga Omu Oyo (Omwoyo) Asinga byonna yakuteeka ku nsi okukuuma obulungi bwa byonna byewasangako, era mweyassa n’okukulira obulamu obukuwangaaliza mu ssanyu, emirembe, obutebenkevu n’enkulaakulana y’ensikirano za bajjajjabo ng’ozikuumira n’oziterekera abaana n’Abazzukulu bo.
Awo nno buli nkya buli ggulo, mu buli ttuntu ne buli ttumbi, tokoowanga okukuma ekyooto okuwuliziganya n’abeŋŋandabo, n’abemikwano gyo mu bw’Omwoyo, era tokoowanga okufukamira mu maaso g’enteeko y’Abalongo okuwuliziganya n’amaloboozi g’ebuziba okukulambika, okukuluŋŋamya n’okukuwabula kw’ebyo byonna by’oluubirira okutuukako, nnaddala okwekennenya, okusengejja, okwefumiitiriza n’okukenunula byonna amatu go by’egawulira, amaaso go byegalaba n’emmeeme yo byerubirira okuganyulwamu.
Ojjukiranga okussa ekigali mu nteeko y’Abalongo, kubanga y’ensawo egabirira bajjajja b’obuzaale bwo, ezzadde n’Abazzukulu bo.
Ebigali gwe mugabo gwa Kabaka mwojja amakulage n’okuwa oluwalo lwo, okuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka; okukulaakukanya obutaka bw’ekika kyo, n’okuvujjirira abaami ba Kabaka, Abasiige mu mbiri za Bassekabaka, n’embuga zonna mu nsozi, mu bibira, mu biwonvu ne nnyanja, awamu ne Bakabona mu Biggwa.
Ojjukiranga okuterekera abaana n’Abazzukulu bo ng’ossaawo ennimiro z’emmere n’ebibala; n’ebiraalo by’ente, embuzi, endiga n’ebinyonyi, kubanga ebyobugagga ebyo ky’ekigabuliro ky’Emisambwa n’Amayembe abakwoolesa ebyama by’obuufu obukutuusa ku buli kirungi Omu Oyo (Omwoyo) Asinga byonna bye yakukuliramu amaanyi g’obutonzi, obuyinza bw’obutonde n’obuvunaanyizibwa bwa buli awali ebyetaago byo n’abantu bo.
Toyaayaaniranga era tewayagalizanga byotokoleredde,
OMUKISA KUKOLA;
OKUKOLA BWEZA;
OBWEZA MUKISA;
…. OBWA MUKASA
…. OBWA NDAWULA BW’ABAANA;
…. OBWA KINTU NE
KISOLO NTABAALO, AKWATA EFFUMU N’ENGABO GWE BAWA.
KY’OVA OWERA ERI NNAMULONDO NTI “…KABAKA WALIGWA NAAWE WOLIGWA..”
BULIJJO OJJUKIRANGA OKWEJJUKANYA EBIGAMBO BINO, KUBANGA BWE BUTUUKIRIVU BWO.
Katwere Musajjaakaawa
+256-704-801 313