Obusika Mu Baganda, Obuganda N’obwakabaka
Emitendera Gy'obusika Mu Buganda Okuviira Ddala Ku Kabaka N'abantu Abalala
Uganda Today: Obusika Mu Baganda, Obuganda N’obwakabaka
Bya Katwere Musajjakawa +256 704 813 313
Omusika oba obusika kye ki?
Omusika ye muntu akwasibwa obuvunaanyizibwa bw’omuntu avudde mu bulamu bw’ensi. Ate Obusika bwe buyinza obukwasibwa omuntu azze mu buvunaanyizibwa obubadde obw’oyo avudde mu bulamu bw’ensi.
Obusika bwa mirundi ebiri:
– Obusika obw’Abantu abavudde mu bulamu bw’ensi (OBUZAALE)
– Obusika obw’Abalongo / Omulongo / Omwoyo / Lubaale (OBUZAARIRANWA)
Waliwo n’abantu abasikira oba abagabana ebyobugagga by’omugenzi, naye abo tebayitibwa basika.Obusika bulambikibwa ku BIFUNDIKWA, nga bya mirundi ebiri:
– Abasika b’Ebifundikwa by’Obuzaale, balondebwa abagenzi mu KIRAAMO / EDDAAME oba abennganda zaabwe.
Abantu bonna abasikira obuvunaanyizibwa basibwako EBIFUNDIKWA, nga kekabonero k’OBUYINZA bw’omusika oyo.
Obusika Bw’obuzaale
Abasika b’obuzaale (abalondebwa abagenzi mu kiraamo / eddaame oba abannganda bababa mirundi ena:
1- Obusika bwa Nnamulondo;
2- Obusika bw’Omusaayi gw’Omulangira abadde ku Nnamulondo.
3- Obusika bw’Obutaka n’Emituba gya Ssekabaka;
4- Obusika bw’Amaka.
*Obusika bwa Nnamulondo bwa bifundikwa bisatu:*
Obusika bw’Ebifundikwa bya Nnamulondo bwonna bussibwa ku muntu omu yekka.
a) Ssaabalongo (Ekifundikwa ky’Eddiba ly’Engo y’Omulongo w’Obwakabaka) oba ennyungirizi y’empuliziganya y’ensibuko y’Endagaano y’amaanyi g’Omuganda gw’Olulyo lw’Abalangira okukkalira ku Nnamulondo;
b) Ssaabataka (Ekifundikwa ky’Olubugo / Eddiba ly’Omusota Ensweera okukuumirwa obumu bw’obuyinza bw’Ebika) oba ennyungirizo z’empuliziganya y’ensibuko y’Obuyinza bw’Obuganda bw’Ebika;
c) Ssaabasajja (Ekifundikwa ky’Ennyonjo y’Eddiba ly’Empologoma) okutuula Nnamulondo okulambikibwa ng’Engule / Enguugu ku mutwe gwa Kabaka, eyolesa ensibuko y’obuggumivu, obugulumivu n’obutuukirivu bw’Ebiragiro bya Kabaka eri obuvunaanyizibwa bw’Omuganda gw’Abalangira n’Obuganda bw’Ebika.
*Obusika bw’Omulongo w’Omulangira abadde ku Nnamulondo.*
Obusika bw’Omulongo w’Omulangira abadde ku Nnamulondo bwawulibwamu emirundi ebiri:
a) Omusika ow’Omulongo gw’Omusaayi ye Mulangira Katebe.
b) Omusika w’Abalongo b’Olubiri lwa Ssekabaka oba Kabaka akisizza ogwa Mugema ye mumbejja abadde Lubuga we.
*Obusika bw’Obutaka n’Emituba gya Ssekabaka bwa birundi ebiri:*
Obusika bw’Obutaka bwawulibwa ne bussibwa ku bantu babiri.
a) Obusika bw’obuyinza bw’Ekifundikwa ky’Obutaka.
b) Obusika bw’Omusaayi.
*Obusika bw’Amaka*
Ekifundikwa ky’obuvunaanyizibwa bw’omusaayi gw’omugenzi.
Obusika Bw’obuzaalirwana
Abasika b’Obuzaaliranwa beebo abasikira obuvunaanyizibwa bwa jjajjabwe abaasigirwa mu mbiri za Bassekabaka, oba Embuga z’Emyoyo. Abasika abo bayitibwa ABASIIGE.