Namagoye Kyeki?
Namagoye Muntu Omulamu Alinga Nze Oba Ggwe Nga Talina Birungo Bifuula Mubiri Ggwe N'enviiri Nga Eby'omuntu Omulala Yenna. Era Namagoye Asangibwa Ne Mubisolo N'ebirime..
- Namagoye yembeera oba enkula y’omuntu, ekisolo oba ekirime etesangibwasangibwa buli wamu, era nga etambulira mu musaayi gwa kika ky’omuntu oyo, olwokubulwa ekirungo ky’olususu ekikola langi y’amaaso n’enviiri. Era embeera eno gyeri mu birime ne mubisolo.
- Omuntu okuba n’embeera eno, bazaddebe bombi bateekeddwa okuba nga balina obutafaali obulemesa ekirungo ekikola langi y’olususu, enviiri n’amaaso.
Ebibuuzo
Banamagoye Mizimu?
NEDDA Banamagoye bantu nga ggwe nange
Banamagoye bafa oba babulabubuzi?
NEDDA, Banamagoye bafa nga omuntu omulala yenna.
Ebitundu by’omubiri ebyabanamagoye birina amaanyi agawonya endwadde eri abantu?
NEDDA, Ebitundu by’omubiri byabanamagoye, tebirina maanyi gawonya ndwadde eri omuntu yenna. Banamagoye bantu babulijjo nga omuntu omulala yenna.
Banamagoye bawonya Siriimu?
NEDDA, Banamagoye tebawonya Siriimu, omulwadde wa Siriimu yenna alina okugenda mu Ddwaliro okufuna obujjanjabi.
Banamagoye baleeta emikisa oba ebisirani?
NEDDA, Banamagoye bantu nga ggwe nange
Nsobola okuggagawala nga neggase n’omukyala Namagoye?
NEDDA, Banamagoye tebalina maanyi ganjawulo.
Banamagoye balya emmere yanjawulo?
NEDDA, Banamagoye balya emmere yeemu n’abantu abalala era baddembe okulya byebagala nga omuntu omulala yenna.
Lwaaki nazaala omwana Namagoye?
Lwansonga nti ggwe n’omusajja gwewazaalamu omwana oyo Namagoye, mulina obutafaali mumibiri gyammwe obuleetera omuntu okuba Namagoye.