Muwala Wa Eddie Mutwe Ayungudde Abantu Amaziga: Laba Akatambi Kano
Mu Katambi akafulumiziddwa nga muwala wa Eddie Mutwe asaba Muhooz Keinerugaba nga ono ye Muddumiizi wa Magye eyavuddeyo nalaga ebifanaanyi bya Kitaawe nga ali bwerere era naateegeeza nga bwe yamukwaata nga akwaata Enseenene, omuwala ono asabye Muhoozi ayimbule Kitaawe kubanga talina Musango'

Uganda Leero: Muwala Wa Eddie Mutwe Ayungudde Abantu Amaziga
Robert Kyagulanyi Ssentamu nga ali wamu nebakulembeze banne mu kibiina kyakulembera ekya NUP omwabadde Waiswa Mufumbiro n’abaana ba Kyagulanyi, baakyaliddeko mukyala wa Eddie Mutwe okumugumya n’okubeesabesa olwekiwubaalo kyebalimu ekyokubuuzibwaawo kwa Eddie Mutwe.
Muwala wa Eddie mutwe nga ye mwana omukulu, alabikira mu Katambi nga alajaanira abaakutte Kitaawe bamute nga mulamu. Akatambi kano nga kakwasa ennaku eyekitalo, kalaga nga muwala wa Kyagulanyi abudabuda munne eyabadde ayungula amaziga.
Kinnajjukirwa nti Eddie Mutwe yawambibwa kumpaka okuva e Mukono gyeyali agenze ku mukolo nga 26/04/2025. Okuva olwo lwonna, poliisi, amagye ne gavumenti okutwalira awamu babaddenga beegaana nti bbo, tebamanyi mayitire ga Eddie Mutwe, okutuusa Sabbiti eno, Muhoozi Keinerugaba Omudduumiizi wa amagye bweyavuddeyo naagamba nti Eddie Mutwe yamulina, nti era yamukwaata nga akwaata Enseenene nti amulina mu basement ye.
Muhoozi yalaze ekifanaanyi kya Eddie Mutwe nga amwereddwa enviiri n’ekirevu kye. Ekirevu n’enviiri byebintu bibiri biraga akabonero akenkukunala ku mubiri gwa Eddie Mutwe. Ekifanaanyi Muhoozi gyeyalaze kyakutte ekitundu kya Eddie Mutwe okuva mu kifuba n’okudda waggulu ku mutwe.
Muhoozi yaweze nga akinagguka nga bwagamba nti Eddie Mutwe amuyigiriza Orunykore nti era ajja kuba nga alukuba buddinda. Yayongeddeko nti ayinza okuyimbula Eddie Mutwe nga amukwaasa Kitaawe pulezidenti Museveni yekka. Yewaanye nti ajja kuddako kuwamba Kyagulanyi.
Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk
Website: https://www.ugandatoday.co.ug
WhatsApp: +256 702 239 337
X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews
Email: ugandatodayedition@gmail.com
Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.