Manya Bino Bikulu Nnyo
Katonda bweyali atonda omuntu yeekennenya ebintu bingi byeyakola nga ayawula omukazi ku musajja.
Obukulu bw’omugongo gw’omukyala
Ebintu bino biwerako era birabibwa kumubiri gwo mukyala omusajja byatalina. Muno mulimu, amabeere, obweenyi oba (face) ennungi era nga esanyusa okulaba, oba nga oyagadde oyinza okugattako n’obutuuliro (akabina) nga ekimu ku byenjawulo ebirabibwaako wakati wo musajja n’omukazi. Naye waliwo Katonda kyeyakola ekiri ku mukazi, bangi kyebatagenderera ate nga kyamugaso era kyanjawulo omukazi kyalina nga omusajja newankubadde ekirina naye kyanjawulo nnyo nyini ku bombi.
Omugongo gw’omukyala.
Omugongo gwa buli mukyala Katonda yagukola nga tegwegolodde nga ogw’omusajja. Omukyala nebwaaba talina bbina, omugongo gwe gwebinamu akatono.
Lwaaki kino kiri bwekityo? Mu mpisa y’ensi naddala wano ewaffe mu Buganda, omukyala yenna yatondebwa nga alina okuweeka ku mwaana mu mugongo gwe.
Era wano abaganda bakiriza nti kino kyekiseera Katonda waweera omwaana omukisa , kyekiseera ekyo nga naddala Nyina oba omukya omula yenna nga amuweese kumugongo. Omwaana yenna bwawekeebwa kumugongo, amala akaseera mpawo kaaga nga yebaka, ekiseera kino Katonda wamuweera omukisa era singa omwaana ono ataataaganyizibwa nga omulimu gwa Katonda guno gugenda maaso, omwaana ono asisimuka.
Eno y’ensonga lwaaki omukyala tappappira kugya mwaana kumabega nga yakeebaka. Omukyala awa omwaana akaseera naleema okutaataaganya mulimu gwa Katonda. Kino abakyala bangi bakikola naye nga tebakimanyi nti Katonda yasaawo ekiseera ekyo okuwa omwaana oyo omukisa.
Eno y’ensonga lwaaki omwaana bwaaba akaaba nga yeziribanga, Nyina ayinza okumusitula namusisiitiira, omwaana nagaana okusirika, era Nyina bwalaba omwaana tasirika, amuweeka kumugongo era awo omwaana asirika.
Era olwokuba nti omugongo gw’omukazi gwatondebwa okukola omulimu gwokuweeka omwaana, y’ensonga lwaaki, omwaana tasobola kumenyeka nga avudde ku mugongo gwa Nyina obo omuntu omulala yenna.
Nakino Kikulu.
Omuzannyo gw’omweeso.
Wano mu Buganda omweeso muzannyo ogunyumira abangi naye ate nga abakyala tebaaguzanyanga. Naye kati, ebiriwo n’omwenkanonkano, abakyala baatandika dda okuguzanya.