Enziika Y’abafu mu Busiraamu

Muslim Funeral Services beyune

Muslim Funeral Services, Kampuni eyatandikibwaawo okukola kuntambuza, okuziika era n’okugoberera amateeka n’obulombolombo bwe eddini y’ekiyisiraamu bwebugamba, yeggasse kundala ezibadde mu Ggwanga nga zikola omulimu gwokuziika.

Muzino, eyali ensaale mukutandika omulimu guno emanyiddwa, ye ya Uganda Funeral Services. Newanubadde nga kampuni endala ezikola omulimu guno, weeziri, naye abayisiraamu batono abettanidde okuzikozesa okukukola ku bayisiraamu ababa bavudde mubulamu bwensi eno. Kino kiva kunkola y’obuyisiraamu erina amateeka amakkakkali omuli obutasuzaawo mufu nga affudde esaawa tezinaaba kutuuka mu ttuntu, okunaaza maiti obulungi, obutaziika maiti mu sanduuke n’emitendera emirala mingi egiwerako.

Mukiseera kino nga ekirwadde kya COVID-19 kiyuguumya ensi nga ne Ggwanga lyaffe Uganda mwolitwaalidde, amateeka agaatekeebwaawo ekitongole ky’ebyobulamu, omuli obutanaaza mufu olwokwewala okusasaana kw’obulwadde, aba Muslim Funeral Services bavuddeyo bukuukubira okusobola okuyamba abayisiraamu basobole okuwerekera banaabwe nga eddini bweragira.

Advertising

Kampuni eno essangibwa e Kamwokya yewandiisa okkola omulimu guno era ekubiriza abayisiraamu bonna ababadde batya okugenda mu kampuni endala nga batya nti tezijja kutuukirizza mateeka ga ddiini, okubatukirira babayambe mukuteekateeka amaziika g’abagalwa baabwe nga tebasudde mugguluka mateeka ga ddini.

Kampuni eno ekubiriza abayisiraamu okubatuukirira okuva wonna mu Ggwanga amangu ddala nga omuntu yakafa kibasobozese okukola ku by’entambula mu bwangu, okusima entaana n’okukola ku byetaagisa ebirala mu bwangu. Nga Kampuni endala zonna, nabano basabayo ku sente entonotono ddala.

Related Articles