Ba Ssekabaka Ba Buganda Ne Ba Katikkiro Baabwe.
Ba Ssekabaka ba Buganda okuviira ddala ku Kabaka Kintu, okutuukira ddala ku Kabaka alammula Obuganda mukiseera kino.
OLUKALALA LW’ABAKUUMA DDAMULA
Ddamula emaze emyaka 600 n’okusoba nga bw’ogiraba awo nga ba Ssekabaka bemmenya wamanga baze bagikwasa ba Kattikiro baabwe wammanga.
KABAKA KINTU
1.Kisolo -Ng’onge
2.Kakulukuku -Lugave
SSEKABAKA CHWA I NABAKKA
1.Walusimbi -Ffumbe
2.Ssebwana -Lugave
SSEKABAKA TTEMBO
1.Kiridde -Kkobe
SSEKABAKA KIGGALA
1.Kasongovu -Mmamba
SSEKABAKA KIYIMBA
1.Magunda Ntege -Ffumbe
SSEKABAKA KAYIMA
1.Ssendikaddiwa -Nseenene
2.Walugali -Lugave
SSEKABAKA NNAKIBINGE
1.Kagali -Nvuma
2.Kalumba -Ffumbe
SSEKABAKA MULONDO
1.Ssekaggya -Nvuma
SSEKABAKA JJEMBA
1.Kisolo -Nseenene (teyali wa Ng’onge)
SSEKABAKA KIMBUGWE
1.Kamegere -Ffumbe
SSEKABAKA MUTEBI
1.Musezi -Ffumbe
SSEKABAKA JJUUKO
1.Mulwana -Ng’onge
2.Wannanda -Butiko
SSEKABAKA KAYEMBA
1.Kisiki -Butiko
2.Lugwanye -Ffumbe
SSEKABAKA TEBANDEKE
1.Ntambi -Njovu
SSEKABAKA NDAWULA
1.Nsobya -Ffumbe
SSEKABAKA KAGULU TEBUCWEREKE
1.Ntambi -Njovu
SSEKABAKA MAWANDA
1.Ssebanaakitta -Mmamba
SSEKABAKA MWANGA I
1.Ssebanaakitta -Mmamba
SSEKABAKA NAMUGALA
1.Kagali -Nvuma
SSEKABAKA KYABAGGU
1.Lugoloobi -Nvuma
2.Kabinuuli -Nvuma
3.Ssengooba -Mbogo
SSEKABAKA JJUNJU
1.Ssendegeya -Mmamba
2.Mayembe -Mmamba
3..Kagenda -Mmamba
SSEKABAKA SSEMAKOOKIRO
Nabbunga -Ndiga
Ssekayiba -Mbogo
Nabembezi -Mbogo
Kiyanzi -Mbogo
SSEKABAKA KAMAANYA
1.Kadduwamala -Nvuma
2.Kitimpa -Nvuma
3.Kafumbirwango -Lugave
4.Kimoga -Lugave
5.Ssebuko -Mmamba
SSEKABAKA SSUUNA II
1.Migeekyamye -Ngabi
2.Kayiira -Mbogo
SSEKABAKA MUTEESA I
1.Kayiira -Mbogo
2.Kisomose -Mmamba
3.Mayinja -Nkima
4.Mulere -Njovu
5.Mukasa -Musu
SSEKABAKA MWANGA II
1.Mukasa -Musu
2.Apollo Kaggwa -Nseenene
3.Stanislus Mugwanya -Butiko
SSEKABAKA KIWEEWA
1.Nnyonyintono -Ndiga
SSEKABAKA KALEMA
1.Muguluma -Njovu
SSEKABAKA DAUDI CHWA II
1.Apollo Kaggwa -Nseenene
2.Kisosonkole
3.Martin Luther Nsibirwa
SSEKABAKA MUTEESA II
1.Martin Luther Nsibirwa
2.Samuel Wamala
3.Martin Luther Nsibirwa
4.Michael Kawalya Kagwa
5.Paulo Kavuma
6.Micheal Kintu -Ngo
7.Mayanja Nkangi -Mutima
KABAKA MUWENDA MUTEBI II
1 .Mayanja Nkangi -Mutima
- Mulwanyamuli Ssemwogerere -Lugave
- Dan Muliika -Nnyonyi
- J.B Walusimbi -Ffumbe.
5. Charles Peter Mayiga – Mutima
Mpozzi nsaba okutangaazamu lwaki Kintu tumuyita Kabaka so si Ssekabaka.
Ssekabaka kitegeeza kabaka eyakisa omukono najjibwako akaba ke.
Kintu ye Kabaka yekka ataakisa mukono wabula yabula bubuzi era teri amanyi gyeyalaga. Olwensonga eyo tumuyita Kabaka Kintu so si Ssekabaka nga bazzukulu be abaseerera bwetubayita.
Era yensonga yemu tewali Kabaka atuula ku Namulondo akkirizibwa kulinya ku nnono era ekuumibwa bazuukulu ba Kintu Abazirango (Mwanje yagikuuma).
Omulangira analya Namulondo alambuzibwaayo nga tanatikkirwa e Naggalabi naye kasita afuuka Kabaka taddamu kulinyayo paka kufa!…anti ku Nnono matwale ga kabaka Kintu ,ate ba Kabaka tebasobola kubeera babiri mu nju emu!!
Olwokuba Kintu yabula bubuzi tuteebereza mwali awo mu Nnono era luliba olwo nazuuka osanga.