Muwala Wa Eddie Mutwe Ayungudde Abantu Amaziga: Laba Akatambi Kano

Mu Katambi akafulumiziddwa nga muwala wa Eddie Mutwe asaba Muhooz Keinerugaba nga ono ye Muddumiizi wa Magye eyavuddeyo nalaga ebifanaanyi bya Kitaawe nga ali bwerere era naateegeeza nga bwe yamukwaata nga akwaata Enseenene, omuwala ono asabye Muhoozi ayimbule Kitaawe kubanga talina Musango'

Eddie Mutwe, omukuumi omukulu owa Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu okumala ebbanga eddene, akyalemedde mu mikono gya Muhoozi Keinerugaba newankubadde nga Uganda Human Rights Commission yamuwandiikidde ebbaluwa emulagira okuta Eddie Mutwe. Okusiinziira kukifanaanyi n’ebyogerwa Muhoozi biraga nti Eddie Mutwe atulugunyizibwa.

Uganda Leero: Muwala Wa Eddie Mutwe Ayungudde Abantu Amaziga

Robert Kyagulanyi Ssentamu nga ali wamu nebakulembeze banne mu kibiina kyakulembera ekya NUP omwabadde Waiswa Mufumbiro n’abaana ba Kyagulanyi, baakyaliddeko mukyala wa Eddie Mutwe okumugumya n’okubeesabesa olwekiwubaalo kyebalimu ekyokubuuzibwaawo kwa Eddie Mutwe.

Muwala wa Eddie mutwe nga ye mwana omukulu, alabikira mu Katambi nga alajaanira abaakutte Kitaawe bamute nga mulamu. Akatambi kano nga kakwasa ennaku eyekitalo, kalaga nga muwala wa Kyagulanyi abudabuda munne eyabadde ayungula amaziga.

Kinnajjukirwa nti Eddie Mutwe yawambibwa kumpaka okuva e Mukono gyeyali agenze ku mukolo nga 26/04/2025. Okuva olwo lwonna, poliisi, amagye ne gavumenti okutwalira awamu babaddenga beegaana nti bbo, tebamanyi mayitire ga Eddie Mutwe, okutuusa  Sabbiti eno, Muhoozi Keinerugaba Omudduumiizi wa amagye bweyavuddeyo naagamba nti Eddie Mutwe yamulina, nti era yamukwaata nga akwaata Enseenene nti amulina mu basement ye.

Advertising Toyota Vigo

Muhoozi yalaze ekifanaanyi kya Eddie Mutwe nga amwereddwa enviiri n’ekirevu kye. Ekirevu n’enviiri byebintu bibiri biraga akabonero akenkukunala ku mubiri gwa Eddie Mutwe. Ekifanaanyi Muhoozi gyeyalaze kyakutte ekitundu kya Eddie Mutwe okuva mu kifuba n’okudda waggulu ku mutwe.

Muhoozi yaweze nga akinagguka nga bwagamba nti Eddie Mutwe amuyigiriza Orunykore nti era ajja kuba nga alukuba buddinda. Yayongeddeko nti ayinza okuyimbula Eddie Mutwe nga amukwaasa Kitaawe pulezidenti Museveni yekka. Yewaanye nti ajja kuddako kuwamba Kyagulanyi.

Published by www.ugandatoday.co.ug, your trusted source for news and analysis

Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk

Website: https://www.ugandatoday.co.ug

WhatsApp: +256 702 239 337

X (formerly Twitter): @uganda43443 | @ugtodaynews

Email: ugandatodayedition@gmail.com

Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!