Ssaabasajja Kabaka Asisinkanye Nankulu Wa UNAIDS
Winnie Byanyima Wakwetaba Mu Misinde Gy'amazaalibwa Ga Kabaka
Okuva Ssaabasajja lweyakwaata omumuli gw’ekitongole kye ensi yonna ekirwanyisa ekirwadde kya mukennenya, abadde asiima nasalawo emirundi mingi okuteeka ensimbi eziva misinde mubuna byaalo nga abantube bajjukira amazaalibwaage mu kulwanyisa ekirwadde kino okukimalirawo ddala munsi yonna nga omwaaka gwe 2030 tegunatuuka.
Bwaatyo nekumulundi gunno, Ssaabasajja yasiima ensimbi ezinaava mu misinde zigenda mu kkowe lyerimu.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’asisinkanamu Ssenkulu w’ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya (UNAIDS), Mukyala Winnie Byanyima, mu Lubiri e Mengo olweggulo lwa leero.
Boogedde ku nsonga eziwerako omuli kaweefube ow’okwongera amaanyi mu kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Ku lwa UNAIDS, Muky. Byanyima yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olwa kaweefube gw’atadde mu kulwanyisa mukenenya.
Muky. Byanyima y’omu ku bagenyi ba Ssaabasajja Kabaka abenjawulo abagenda okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ge olunaku lw’enkya.
Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gitambulira ku mulamwa ogugamba nti “Abasajja Tubeere Basaale mu Kulwanyisa Mukenenya, Tutaase Omwana ow’Obuwala”.