Ssaabasajja Kabaka Asiimye Naasimbula Emisinde Gyamazaalibwaage

Nnaabagereka Sylivia Naye Abadde Bulembwe Ne Kabaka

Uganda Today Ssaabasajja Kabaka asiimye nasimbula emisinde gy’amazaalibwage age 68.

Uganda Today: Olubiri lwe Memgo luwuumye enkya ya leero, Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II bwasiimye nasimbula emisinde gy’amazaalibwage age 68.

Bw’abadde tannasimbula misinde, Omutanda asiimye n’ayogerako eri abaddusi, n’abakuutira okwongera amaanyi mu lutalo olw’okulwanyisa mukenenya, abantu bayige okumwekuuma, okumwejjanjabisa, n’okulabirira abamulwadde.

Advertising Toyota Vigo

Ssaabasajja Yeebazizza abantube olw’okuwagira emisinde gino ne gituuka kussa erivuganya n’egyo egiddukibwa mu bibuga ebinene mu nsi yonna.

Asabye abantu okusigala nga bagijjumbira, beeyongere obungi, gituuke mu kifo ekisooka mu nsi yonna, olutalo ku siriimu tuluwangule

Mukusimbula emisinde Omutanda azze ne Maama Nnaabagereka, Abaana b’Engoma, Abalangira n’Abambejja. So nga Katikkiro, Baminisita, Ababaka b’Amawanga ag’ebweru, Ababaka ba Palamenti, Abakulembeze ab’enjawulo, Bannaddiini n’Obuganda bwonna bubaddewo mu bungi okubugiriza Omutanda.

Ye Katikkiro wa Buganda Oweekitibw Charles Peter Mayiga yebazizza Ssaabasajja Kabaka okusiima nasimbula emisinde gy’amazaalibwage.

“Tweyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka, okusiima n’otusimbula ne tudduka emisinde gy’Amazaalibwago, nga tulwanyisa mukenenya. Mu ngeri yeemu, nneebaza Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi, Oweekitibwa Twaha Kaawaase; Abalangira; Abambejja; Baminisita; Ababaka b’Amawanga ag’ebweru,” Katikkiro bwagambye.

Abantu ba Kabaka mu masaza gonna e 18 nebweeeru waagwo nabo betyabye mu misinde gy’amazaalibwa egisimbuddwa abaami ba Masaza n’abamagombolola.

Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka giwagiddwa Airtel Uganda, UNAIDS, CBSfm, BBS Telefayina, nebitongole ebirala bingi.

Laba emisinde mu bifaananyi;

 

Wammanga, Ssaabasajja Kabaka nga awayaamu n’omulangira Muttowe Wasajja

Wammanga, Enkuyanja ya bantu ba Ssaabasajja abeetabye mu Misinde.

Wammanga, Ssaabasajja Kabaka ne Nnaabagereka nga baakatuuka mu Lubiri

 

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!