EbyobusuubuziUganda Leero

Prime Concepts Packaging +256 393 517 036 Battumbudde Kira Municipality

Ebisawo Ne Sanduuke Zonna Ebikozesebwa Mu Kusabika Ebyamaguzi Okuviira Ddala Ku Ttule Z'amaggi

Ba Prime Concepts Packaging abasangibwa e Bweyogerere Bbuto, mu Kira Munisipalite, battaddewo essuula empya mukukola ebippapula n’ebisanduuke ebyabuli ngeri omuterekebwa ebyamaguzi nga bitambuzibwa.

Bakola ebisanduuke ebyabuli ngeri nebwooba nga oyagala okuteekako ebifanaanyibyo oba ebigambo bakikola

 Ebifa Ku Prime Concepts Packaging.

 BYONNA BYEBAKOLA BIZIMBIBWA KUMUTINDO OGWAWAGGULU

 

Kampuni eno yatandikibwaawo okukola ebisanduuke ebitambulizibwamu ebyamaguzi ebiri ku mutindo gwe nsi yonna nga bibunyisibwa wanno mu Uganda ne mumawanga g’obuvanjuba bwa Africa (East Africa)

Bakiriza nti bo ku Prime Concepts Packaging okwenyumiriza kwomuguzi w’ebintu byaabwe nobumattivu ku ki kyagula, kintu kikulu nnyo gyebali okusobola okuyimirizaawo eby’obusuubuzi byaabwe. Badizayina baabwe batukiriza obwetaavu bwa ba kasitoma bonna era nebamaliriza buli mulimu mu budde obulagaane.

Bakola buli kisanduuke okusinziira ku kasitoma kyaaba ayagala nga kiri mupippimo era nokutukiriza okimalira mu budde bwakyagaliramu.

Custom Box Ordering

Prime Concepts Bakola ebippakira n’okusiba ebyamaguzi ebyenjawulo mubippimo ebitali bimu n’ensengeka ezenjawulo. Bino byonna babikola nga babijja mubippapula ebiggumu ebyomutindo gw’ensi yonna.

Baddiza abatuuze (Corporate Social Responsibility).

Abagavumenti ez’ebitundu (Kira Municipality) benyumiriza mu Kampuni eno olwebintu byabakoledde abantu mu kitundu. Baakolera abantu oluguudu lwa mita 500 nebalukuba kolasi okutuukira ddala ku factory yaabwe. Bawa abantu bomukitundu emirimu nga muno mwotwaalidde abakyala naddala abo  abalina abaana nga bebaberabirira bokka awatali musajja. (singo mazazi). Ekikolwa kyabwe kino kiyambye nnyo ku bbula ly’emirimu mu Kira municipality.

Ebippapula omuva sanduuke zino, biggibwa ebweeru we Ggwanga era nebikolebwaako ba kali magezi abakugu okusobola okakasa nti biwangaazi era nti n’ebyamaguzi byo ebyomuwendo bituusibwa wonna webiraga nga tebyononese.

To comment on this story, or share any news or pertinent information, please follow us on:

Facebook: Uganda Today

Twitter: @ugtodaynews

WhatsApp:+256 702 239 337

Email: ugandatodayedition@gmail.com

 

image

UgandaToday

UgandaToday is published by CMK Media Solutions. UgandaToday is your trusted source for news and analysis. Partner with Uganda Today where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country. Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Website: https://www.ugandatoday.co.ug WhatsApp: +256 702 239 337 X (formerly Twitter): @uganda43443 | Email: ugandatodayedition@gmail.com P.O.BOX 184351 Kampala. Uganda

Related Articles

Check Also
Close
Back to top button
error: Content is protected !!