Katikkiro Wa Buganda CPM Akuzizza Amazaliibwaage
NUP Pulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu Yayozayozezza Katikkiro
Katikkiro Wa Buganda abavubuka gwebakazaako erya CPM, olunnaku lw’eggulo nga 29.06.2022, lwabadde lwa mazaliibwage. Omukulembeze w’ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavument, Robert Kyagulanyi Ssentamu yawuubyeko olubu lw’ebigere ku kitebe ky’obwakabaka e Mengo okuyozayoza Katikkiro olwokutuuka kumazaliibwaage ag’omwaaka guno.

Kyagulanyi amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine, yakulembeddemu ekibinja kya NUP omwaabadde n’omukyaala akikirira Kampala mu lukiiko lwe Ggwanga Shamim Malende.




