Dr. Spire Ssentongo who government officials want to silence because of championing the crusade to unearth the rot in service delivery and the infestation of endemic corruption
Uganda Leero: Abaatukubira Omululu Baatutta
Kirimululu okufanaaganako ne Kabbira gwe baayimbako oluyimba nti Kabbira baamutema ekyambe nga akwenyuka obubbi n’okusoma byonna nga abyagala!. Obubbi n’omululu mize mibi nnyo, omuganda okuva edda ne dda lyonna byeyakugiranga omwanawe okuba nabyo. Mu Buganda omwana akuzibwa nga alagirwa okumattira n’ekyo ekitono kyalina natalulunkanira bingi ebiyinza okumutwaala mu kukemebwa okwobubbi..
Bya: Jimmy Spire Ssentongo
Mwami Spire Ssentongo, omukugu mu kwogeza ebifanaanyi, nga akozesa ekifanaanyi okwogera. Olwaleero ayise mu Kitontome kino okwatulira abo bonna abeesomye okuluvubanira buli kimu.