Olubugo Lwe Lugoye Lwa Baganda Olwasooka

Emitendera Egiyitibwaamu Okukola Olubugo Tusobola Okugifuula Ekyobulambuzi

Uganda Today:

Okukomaga Kyeki?

Okukomaga gyemitendera egiyittibwaamu okukola Olubugo. Olubugo Lwe Lugoye Lwa Baganda olwasooka Abaganda lwebayiiya okwambala okusobola okwejjako ensonyi olwokuyita obwerere.

Olubugo lwayiyizibwa Abaganda Bazzukulu ba Kisolo ab’Engonge Wamala ne Kaboggoza era awo nebajjako Obuganda ensonyi ezokuyita obwerere. Abawarabu abasooka okujja mu Buganda okuleeta engoye n’ebirala ebyakozesebwaanga abantu abagunjufu, basaanga Abaganda bambala Embugo.

Okwefananyirizaako ebyawandiikibwa nga bwebiraga mu Lubereberye nti Katonda yatonda Adam ne Kaawa naabateeka mu Lusuku Eden nga bali bwerere, era nabalagira obutalya ku Muti oguli mu Lusuku mummakkati, naye nga bwetumanyi ebyaddirira Omusota bwegwasendasenda Kaawa okulya ku kibala ky’Omuti ogwomummakkati, ate era natwalirako Bba Adamu nebakizuula nti baali bwerere, bo batuunga amalagala g’Emiti nebambala.

Naye Abaganda bayiiya Olubugo nebalekeraawo okwesiba Amaliba agebikkalappwa ebyabasunaanga.

Advertising volcano coffees

Wammanga mu katambi kano, laba emitendera egiyitibwaamu okukola Olubugo.

Nga CNN, BBC,CBNS, National geographic bwebagenda okujja e Rwenzururu mu Rwenzori Tulji okuva nga 31 okutuusa nga 4, kyandibadde kirungi abakomazi b’Embugo nebakwaatagana nabo nebasobola okubatunda mu balambuzi emitala wa Mayanja nga bamaze okuteekateeka obulungi ekkomagiro nga ekyobulambuzi.

This is not Japan, this is Uganda!
The state of the art architectural designed Kabale – Kisoro road
#VisitUgandašŸ‡ŗšŸ‡¬
#ExploreUganda
#Tulambule +256 702 239 337
Email: cmkmediasolutions@gmail.com

Nga bwekiri nti Babylon Gardens eziri ku Rwenzori mountain zezisinga obulungi mu Nsi yonna, era nga zisikiriza abalambuzi okujja okuziraba, bwekityo ne Kkomagiro eritegekeddwa obulungi tewali nsonga egaana balambuzi kujja kulaba ngeri Olubugo gyerukolebwaamu.

Omukyala nga annekedde mu Lugoye olwo Lubugo. Olubugo lwa Kimote luba luweweevu nnyo era nga terukalubiriza muntu kulwambala oba okulwebikka.

Akazinga ka amazzi akagatta enyanja GeorgeĀ  ne Edward nga mwemusangibwa Envubu enyingi munsi yonna, ebitundu 38% ebyebinyonyi n’Emwaanyi ezisinga akawoowo byankizo nnyo mukusikiriza abalambuzi okujja wano. Kale nno ne Ekkomagiro eddungi nga omulambuzi ajja nalaba emitendera egiyittibwaamu tewali nsonga egaana bakomazi kunoga nsiimbi.

volcano coffees

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!