AmawulireUganda Leero

Obubaka Obuyozayoza Ssaabasajja Kumazaalibwa

Abantu N'ebitongole Ebyenjawulo baatandise Dda Okuwereeza Ssaabasajja Obubaka Obumuyozayoza Okutuuka Kumazaalibwa Gano Age 69. Abantube Besuunze Byansusso

Ssaabasajja ayagala nnyo abato abayiiya nga ono. Omuto ono asangibwa Kasese

Uganda Today Edition: Ssaabasajja Kabaka wa Buganda nga agenda okujjaguza amazaalibwage, Obuganda bwonna buba wamu naye mukujaguza n’okulaga Obuganda ebintu ebyenjawulo Ssaabasajja byaaba akoze olw’obuwereza eri abantube.

Abayimbi abenjawulo bawawula amaloboozi okusanyusa Omutanda

Aba Damba Kezaala Enterprises nga bano bakubi ba plan za farms wano mu Buganda, Uganda n’amawanga ga Africa agomubuva njuba baavuddeyo nga abasaale okuwereza Ssaabasajja obubaka obumuyozayoza.

Aba Keddi Foundation nga bano bakulirwa Hon. Dr. Keddi Steven Zuluba nabo tebalutumiddwa mwana newankubadde nga Hon. Keddi Mugwere naye olwokulaba nga Ssaabasajja alafuubana okutuusa obuwereza obwenjawulo eri abantube mu byobulamu, ebyengiriza, n’ebyobulimi ate nga naye ekitongole kye ekyobwanakyeewa kikola ku bintu nga ebyo naddala okuyamba abantu abatuusiddwako obuzibu bwebigwa bitalaze, okutuusa ku bantu amazzi amayonjo,abalimi  n’abalunzi, Hon. Keddi Steven, ayayaana nnyo okusisinkana Ssaabasajja amwanjulire enteekateekaze zalina eri abantube wano mu Buganda.

Banna Uganda bonna abali ebunaayira okutwalira awamu  nabo bettanidde nnyo omwaka gunno okuyozayoza Ssaabasajja.

Ebisanyusa ebya buli ngeri bitegekeddwa okusanyusa Ssaabasajja kumazaalibwage. Ssaabasajja bwanaaba asiimye oba oli awo analambula ku bantube abe Kasese. Kasese yesangibwa akazannyo kano. Omuntu asobola okuvuga akagaali kumiguwa nga gisibiddwa erudda n’erudda waggulu mu bwengula  ku Nyanja George nga ava e Lyemibuza okudda emitala.

 

Publisher

Uganda Today

Published by Uganda Today, your trusted source for news and analysis. Let’s help you grow your brand and keep your audience informed.


Partner with Uganda Today where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.


Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk


WhatsApp: +256 702 239 337


X (formerly Twitter): @uganda43443 |


Email: ugandatodayedition@gmail.com

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!