Hon Zaake Azize Eza Speaker Kumbagaye

Kiyinda Mityana Awuumye Nga Omubaka Akuba Ebirayiro Ne Mwana Munne

Omubaka wa Mityana Municipality mu lukiiko olukulu olwe e Ggwanga ow’ekitiibwa Zaake Francis Butebi, olunaku lwaleero okubye ebirayiro nga awasa mwana munne omumbejja Bridgette Ndagire Namirembe mu Eklezia Lutikko Namukozi Mityana.

Zaake NGA bwelabika nga annekanekanye ne munne Bridgette Namirembe

Omukolo guno oggwefugiddwa banna byabufuzi naddala abo abava mu kibiina kya National Unity Platform (NUP), okuviira ddala kubakubi b’ebifanaanyi, bonna beenaanise ovalolo emyuufu.

Bano baasoose kuyisa bivulu mu Kibuga Mityana nga bakulembedwaamu abavubuka abatambulira ku skates  ne band eyabadde ekuba enyimba eziwaana omubaka.

Advertising Toyota Vigo

Embaga eno gwemukolo oguddiridde okwanjulwa kwa Zaake mu Maka gabazadde ba Namirembe nga 29.08.2022 e Kifamba mu Saza lya Ssaabasajja erye Gomba.

Hon Zaake nga bweyalabika mu kwanjulwa mwana munne Bridgette Namirembe mu maka ga bakaddebe e Kifampa Gomba nga 29.08.2022.

Zaake Yazize Ekirabo Okuva Eri Mukamawe Mu Lukiiko Lwe Ggwanga Kya Bukadde 10.

Nga batuuse mukusembeza abagenyi baabwe enkuyanja, kalabalaba w’omukolo yawadde omubaka wa Ndorwa East akazidaalo atuuse obubaka bwa Speaker eri Zaake.

Omubaka Niwabine yayanjulidde Zaake obubaka obusome era obwabadde buwerekeddwaako kavvu wa bukadde 10 ekyabaadde ekirabo  ekimuwerezeddwa Speaker wa Parliament Hon. Annet Anita Among. Zaake bweyakwasiiddwa ebbasa omwabadde sente, yagikasuse era omu kubagenyibe yalabiddwaako nga agironda. Laba akatambi Kano wammanga.

Ebikonge biingi okuva mu kibiina kya NUP babaddewo kumukolo guno. Bano bakulembeddwaamu omukulembeze w’oludda oluwabula gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga Nsamba, Omuwandiisi owokunttikko mu NUP, David Lewis Rubongoya, omwogezi w’ekibiina kya NUP Yoweri Ssenyonyi nabalala baangi.

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!