Missaaki Ssemakula Yekkokkodde Abayokya Amasiro
Yenyumiriza Mukuba Omuganda
Omuyimbi omututtumufu, era ow’erinnya Missaaki Ssemakula nga ayita mu katambi keyakutte nga ali ebulaaya, yavumiridde nnyo banna Uganda abefunyiridde mu kufeebya eby’obuwangwa byaabwe nga batiitiibya ebyaba kyeruppe.
Akatambi kano keyakwaattidde e Bulaaya, kafulumidde mukiseera nga Kwiini wa Bungereza afudde, abangereza mwebalagidde nti baagoberedde obuwangwa ne nnonno yaabwe yonna egyayo obulombolombo bwaabwe bwonna omuli nokubikira Enjuki ezirundirwa mu Lubiri lwa Kwiini, n’ebirala biingi. Soma kubino https://ugandatoday.co.ug/abangereza-baagoberedde-ennonno-nebakatagga-mukufa-kwa-kwiini/
Akatambi kalaga enyumba ey’essubi nga erimu ebintu biingi omuli n’endeku, ebita ne kalonda omulala muungi alaga abazungu nga bwebatalina ndowooza egamba nti ebintu ebyo bya sitani nga bweguli wano ewaffe.
Ssemakula yekkokkodde bannakigwanyizi abakkira Amasiro gaba Ssekabaka ba Buganda agali e Kasubi nebagatekera omuliro mu 2009. Laba akatambi wammanga wano
Ssemakula annyonyola nti kati abazungu bannoga sente empya n’enkadde olw’balambuzi abagenda mukifo kino okwerolera kubintu bino.