Ganda Boys Beetaaga Buvugirizi

Akasuka Lyaali Nalyo Taba Mutitiizi, Osabibwa Okuwagira Ba Ganda Boys

Uganda Today: Olwokwagala Okutwaala Omulimu Amatendo Gwebaliko Okutumbula Obuwangwa, Ennono N’ekitiibwa Kya Buganda Ba Ganda Boys Basaba Kuvugirirwa.

Abavubuka abayimbi Denis Mugagga ne munne Dan Ssewagudde nga bombi Baganda, nga bambadde amakaanzu era nga besumise (n’embugo), olugoye lwa Baganda olwayiiyizibwa omuganda (Wamala) owekika kye Ngonge najjako Abaganda ensonyi ezokuyita obwereere.
Olugoye olw’olubugo lukomagibwa okuva mu Muti ogw’omutuba. Era olwokuba lwayiiyizibwa ow’eNgonge, omulimu gw’abekika kye Ngonge mu Lubiri lwa Ssaabasajja kyeguva guba ogw’okukomaga embugo za Ssaabasajja.

Bikkula linki eno wammanga osobole okuwaayo kyosobola. Gikoppe ogipestinge ejja kubikkula

https://gofund.me/ae4a3e54

If you prefer an English version please contact Fred Ssemugera on
+44 7956 455 133

WASIIMA GANDA BOYS NGA BAYIMBA EKITIIBWA KYA BUGANDA?

Advertising Toyota Vigo

Nkulamusizza ssebo/nnyabo.

Nsuubira nti walaba omulimu amatendo Ganda Boys gwe baakola luno jjolyabalamu nga bakunze abayimbi ku Ssemazinga mukaaga okuyimba Ekitiibwa kya Buganda era nkakasa naawe wakyenyumirizaamu.
Tubeebaza nnyo nnyini olwa kaweefube oyo.

Wabula omulimu gukyagenda mu maaso. Bakusaba n’obuwombeefu, obuwagizi n’obuyambi bwo basobole okwongera omulimu guno mu maaso.

Abaami bano Dennis Mugagga, Dan Ssewagudde ne munywanyi waabwe Craig Pruess era bakozesezza ekitone kyabwe eky’okuyimba okuyamba abantu baffe ab’enjawulo e Uganda nga bayita mu kibiina ky’obwannakyewa kye baatondawo ekya Ganda Foundation

N’obwetoowaze nkusaba obawagire nga oyita mu gofundme eyo waggulu oba okuweerayo ku Ganda Foundation eri ku

www.gandafoundation.com
UK Charity No.1158040

Osabibwa okuweerezaako abalala.

Ebyawandiikibwa bitugamba nti Bwe kityo nno, ku bikolwa byabwe kwe mulibategeerera.

Era awo Omungereza w’agambira nti Walk the talk.

Weebale nnyo weebalire ddala

Fred Ssemugera
+44 7956 455 133

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!