Enjawulo Wakati W’okulanya N’okuwera

Omuntu Alanya Saawa Yonna Nga Ayagadde Oba Nga Asabiddwa.

OKULANYA N’OKUWERA

Bya Katwere Musajjaakaawa

Weewaawo abantu bangi ddala batankana obuzaale bwabwe; era bangi abalina okusoowagana mu obuvunaanyizibwa, bwa Bajjajjaffe, n’abeebitiibwa. Wabula bulijjo tetusanye tunenye bantu nga bwetuzza embugo!

Omusika wa Namwandu wa Girigoli Ssensonga e Sempa Bulemeezi, muky. Nabbosa Hadija (asibye olubugo ku ddyo) nga atudde kukifuggi oluvanyuma ly’okusumikibwa okudda mu bigere bya Sengaawe Namwandu Florence Nakiyingi Ssensonga e Sempa Katikamu Luweero, nga26.11.2022. Ku kkono era asibye olubugo ye Lubugawe.

Kati nsaba munzikirize nziremu ebibuuzo ebyo, nga ntandikira ku kisooka

Advertising Toyota Vigo

*1- Okulanya n’okuwera kye ki?*

Okulanya kitegeeza okweyanjula eri bajjajjaffe n’abaganda bonna. Ate okuwera kitegeeza okweyanjula mu maaso ga Nnamulondo.

Okulanya olina okulambulula obuzaale bwo, okuva ku mannya go, aga kitaawo, bajjajjabo mu nju mw’ova, ne bajjajjabo ku mitala emirala egisangibwa mu Nnyumba y’Omusaayi gwo.

Enju esangibwa ku mutala, nga wewali ebigya awasangibwa AMALAALO (EBIGYA) bya bajjajja b’omusaayi gwo.

Okugeza:

*Amannya go:* Katwere Musajjaakaawa, nga ntula Entebe mu Busiro. Nnina emyaka 65, ndi mufumbo, era nnina abakyala, abaana n’abazzukulu.

Amannya ga Kitange ye Katwere Musajjaawaawa Ssaalongo eyawummulira ku Mutala Kiwanyi mu Buddu.

Jjajjange azaala Kitange ye Lutaaya Wavamuno ayawummulira ku Mutala Kiwanyi mu Buddu; ndi muzzukulu wa Lwotoowone eyawummulira ku Mutala Butalaga – Bukomansimbi mu Buddu; ndi muzzukulu wa Kaggwa Ssonko, eyawummulira ku Mutala Butale mu Buddu.

(Lutaaya Wavamuno, Lwotoowone ne Kaggwa Ssonko, zonna ziba NJU ez’omusaayi gwo gumu ezisangibwa mu Nnyumba yeemu)

Nva Nnyumba ya Wagwenkuba obutaka buli Makerere mu Kyaddondo; mu
Lujja lwa Mwanamugimu obutaka buli Nateete mu Kyaddondo; mu Lunyiriri lw’abakondere obutaka buli Bulange mu Kyaddondo.

Nsibuka mu Mutuba gwa Muganga, obutaka buli Ffunvu mu Mawokota, mu Ssiga lya Ssenkungu Mulumuli e Mawokota.

Akasolya ka Muwanga Ssebyoto Kisolo e Bweza mu Busijju, nga ye Katikkiro wa Kabaka Kato Kintu mu Lubiri e Nnono mu Busujju.

Nneddira Ŋŋonge, Akabbiro Kaneene. Omubala gugamba nti “…ku lwajjali ku lwajjali abalabe ba Buganda we baggweera…, ekirimala abasajja nnyago; bbe ppo eddogo…

Nnyabo anzaala ye Namirembe muzzukulu wa Mugema ow’enkima. JJAJJA eyaweeka Maama ye Namutebi muzzukulu wa Ggabunga ow’Emmamba; ate jjajja eyayonsa Taata ye Nakayima muzzukulu wa Kasujja ow’Engeye.

Omuntu alanya nga agenda okusumika oba okusumikira omusika mu lumbe olw’omusajja oba omukazi.

Wabula bwetuba tuwera tetulina kulambulula buzaale bwaffe. Tugamba nti
“Ayi Kabaka nze musajjawo / omuzaanawo…, muzzukulu wa Muwanga Ssebyoto Kisolo… … …” n’omaliriza nti “ayi Kabaka wange woligwa wendigwa, engabo ya bajjajjange nginywezezza okulwanirira Obwakabaka bwange, Eggwanga lyange n’ensi yange Buganda.. Wangaala wangaala wangaala Kabaka wange, Kabaka wa Buganda”

 

Toyota Vigo

Chris Kato

Uganda Today is a source of analytical, hard and entertaining news for audiences of all categories in Uganda and internationally. Uganda Today cut its teeth in Ugandan media industry with its print copies hitting the streets in October 2014. We are heavily indebted to all our publics and stakeholders who support our cause in one way or the other. To comment on our stories, or share any news or pertinent information, please follow us on: Facebook: Uganda Today Twitter: @ugtodaynews WhatsApp:+256 702 239 337 Email: ugandatodayedition@gmail.com Website: https://www.ugandatoday.co.ug

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!