Awambiddwa
Burkina Faso, Pulezidenti Awambiddwa Luvanyuma Lwa Myeezi Bweezi
Burkina Faso Nate Ezzeemu Obusambattuko Obwaggweredde Mukuvuniika Gavumenti Ebadde Yakamala Emyeezi Obweezi.
Amagye mu Burkina Faso nga bagumbye mukifo ekimu.
Omuduumizi w’eggye ery’eggwanga erya Burkina Faso Ibrahim Traore yawambye abadde omukulembeze w’eggwanga eryo Paul-Henri Damiba era naayiwa n’abakulembeze ggwaddidde mubigere babadde akola nabo.
Okuwamba kuno bakulangiriridde ku Ttivi y’eggwanga ekiro ky’olunnaku olwokutaano, wabula basoose kuggyako Ttivi eno okumala essaawa eziwerako era nga kuliko ebigambo ebigamba nti ‘No Video Signal’. Abadde omukulembeze w’eggwanga erya Burkina Faso Paul Henri bamuvunaana kulemererwa kukyuusa nambika yamaggye agajjako eyali omukulembeze emyezi munaana emabega awamu n’eby’okwerinda ebiri mu mbeera embi. Ono awambiddwa nga mu ntebe abadde tanabugumyamu na mbooge anti abadde yakagimalamu emyezi munaana gyokka nga ono yali yawamba Roch Kabore mu mweezi ogwa January omwaka guno.
Traore mukiwandiko ekyasomeddwa ku Ttivi y’eggwanga eryo nga mukungu mulala yakisomye wabula nga omukono oguliko gugwe yategeezezza nti abamu ku bannamagye abaawagira Damiba okutwaala obukulembeze bw’eggwanga eryo bwebasazeewo okumujjako olwokulemererwa okulwanyisa bamukwata mundu mu ggwanga eryo ababafuukidde ekyawalulwa.
Bano tebakomye okwo wabula ne ssemateeka w’eggwanga eryo bamuyimirizza nga kati takyakola , endagaano zebasaako omukono ez’okukyuusa obuyinza nazo zisuuliddwa mu kasero era n’ensalo z’eggwanga eryo nazo zigaddwa , wabula ssi byebyo byokka naye balangiridde ne kkafyu mu ggwanga eryo okuva ku ssaawa ssatu ez’ekiro okutuusa ku ssaawa kkumi neemu ez’okumakya abantu tebakkirizibwa ku tambula.
Mu kiwandiiko ekisomeddwa balaze nti Damiba bagezezaako okutuula naye n’okumuwa ebirowoozo ku bintu ebyenjawulo naye nga tafaayo, era nti bakizudde nti ebirowoozo bye n’ebigendererwa bikyuuse ku kyabaleeta kwekusalawo okumuwamba . Naye basuubizza nga bwebajja okuyita abantu abakwatibwaako mu kaseera mpa we kaaga basalewo ekiddako omuli okutondawo endagaano ez’okukyuusa obuyinza bubeere mu mikono gya bannamagye oba abantu baabulijjo.