AmawulireUganda Leero

Aziza Bafana Aleetedde Ensi Okuwunikirira

Naye Ddala Abakaramoja Bebasindika Abaana Baabwe Ku Nguudo Za Kampala?

Omuyimbi munna Uganda Aziza Banana awunikiriza ensi bwagenze e Karamoja nageezaako okuwa omukyala omukaramoja gwasanze ku n’abaanabe ensiimbi naye ate omukyala nazigaana.

Omukyala ono, eyabadde aweese omwana omuto ku mugongo nga ali n’akalenzi akato ekemyaaka nga 6 nga kettisse omugugu, agamba nti babadde bava mu Ddwaliro e Matany.

Bafana yagezezaako okuttonera omukyala ono ensiimbi  obuppapula obw’omutwaalo ogumu busatu nga agenderera nti buli omu afune omutwaalo gumugumu naye gyebyakidde nga omukyala ensiimbi azimuziliridde.

Mukatambi nga Bafana awayaamu n’omukyala ono eyawulikise nti muyivvu olwokuba olungereza yabadde alukuba buddinda, yagaanyi ensiimbi nga agamba nti ono okumuwa ensiimbi ezo zonna, yabadde nekigendererwa ekyokumuloga.!

Omukyala awulikika nga amubuuza oba ensiimbi zino zeyabadde amuwa, oba ziva wa Katonda.!

Abakaramoja Bafa Enjala.

Kinajjukirwa nti enjala “ggwe omuwadde akatebe” ejjonyesa abakaramoja ensangi zino, era nga gavunenti, eamakkanisa, n’ebitongole binakyeewa bali kumulimu gwokubudabuda abakaramoja nga babaddukirira ne mmere n’ebintu ebirala ebikizedebwa mu bulamu obwabulijjo.

Naye Ddala Ddala Abazadde Abakaramoja Bebasindika Abaana Baabwe Ku Nguudo Okusabiriza?

Okusinziira kukatambi kano, kaleetawo ebibuuzo biingi nnyo kunsonga yabakaramoja abaana abasangibwa ku nguudo zomu Kampala n’ebibuga ebirala mu Ggwanga nga basabiriza, nga kigambibwa nti abazadde baabwe bebabasindika okujja ku nguudo okusabiriza.

Singa ddala abazadde bebasindika abaana bano, omukyala nga ono, yandibadde akimanyi bulungi nti mu Uganda mulimu abazira kisa abasobola okuyamba abalala abali mubwetaavu.

 

Publisher

Uganda Today

Published by Uganda Today, your trusted source for news and analysis. Let’s help you grow your brand and keep your audience informed.


Partner with Uganda Today where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.


Website: https://www.ugandatoday.co.ug/about-cmk


WhatsApp: +256 702 239 337


X (formerly Twitter): @uganda43443 |


Email: ugandatodayedition@gmail.com

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!