Museveni Ayongedde Okweekiika Mu Kabaka?

Awo nno Abantu okuva mu Bika 25 abenyigidde mu nteekateeka y'omukolo guno, bakikoze ng'abantu abenonyeza ebyabwe naye sirwa Bbika by'Abuganda. Uganda Leero yafulumya Eggulire kunsonga eno yeemu era liirino wejjukanye: Museveni Yekiise

Museveni, kati akkunukiriza mu myaka 41 nga akulembera Uganda, akoze bingi ebigendererwaamu okulemera mu buyinza nga muno mwemuli n’okwekiika mu bukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka nga bwalabika nga azza abataka b’ebika by’abaganda okukola ebintu emabega wa Ssaabasajja.

Uganda Leero: Mu Buwangwa n’ennono By’eggwanga ly’Abaganda, Abataka B’ebika bwebakunganira awamu kitegeeza Obumu bw’ekifundikwa ky’Olubugo ekiyitibwa Ssaabataka oba Buganda.

Bya: Katwere Musajjaakaawa
Kale omukolo guno ogwakoleddwa Museveni nga akulemberwaamu minisitawe Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo, Katikkiro oba Mmengo tebagulinaako kakwaate konna, nti era nga  Ssaabataka bw’aba teyabadde mu nteekateeka eno oba okukiikirirwa, kitegeeza Ebika by’Abaganda tebirina kakwaate konna ku byakoleddwa; era Embuga eyo eyatuumiddwa Lwattamu temanyiddwa mu byafaayo by’Eggwanga ly’Abaganda.
Awo nno Abantu okuva mu Bika 25 abenyigidde mu nteekateeka y’omukolo guno, baakikoze ng’abantu abenonyeza ebyabwe naye sirwa Bika by’Abuganda. Omwaka oggwaggwa, Uganda Leero yafulumya Eggulire kunsonga eno yeemu era liirino wejjukanye: Museveni Yekiise
Ekizimbe ekisuubirwa okuyitibwa Lwattamu, bangi nga tebamanyi, kigambo kino kiteegeezaaki, bwekityo, bwekisuubirwa okulabika nga kimaliriziddwa.

Published by Uganda Today, your trusted source for news and analysis

📍 Website: https://www.ugandatoday.co.ug
📱 WhatsApp: +256 702 239 337
🐦 X (formerly Twitter): @uganda43443 |
📧 Email: ugandatodayedition@gmail.com

Let’s help you grow your brand and keep your audience informed. Partner with Uganda Today—where your story matters in shaping the social and economic dynamics of the country.

Publisher

Toyota Vigo

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!