
UgandaLeero: Yusuf Nsibambi Ayise Tembo Oba Abalonzi Bebamutabudde Okukola N’okwogera Ebitajja Nsa?
Omubaka akikirira ekitundu kye Emawokota ey’omumaserengeta (Mawokata South) Yusuf Nsibambi (FDC Nampala wa Palament) abadde asaba ekisanja eky’okubiri naye abalonzi nebamusambajja, yaweebuuse bweyakawangamudde nti Museveni yeyawangula akalulu akakaggwa ate nga abantu bangi bemulugunya ku kalulu kano era nga balaga ebintu bingi ebyamankyoolo ebyalabikira mu kalulu kano.
Nsibambi teyakomye ku kwasanguza nti Museveni teyabba kalulu , naye yayongeddeko n’okukunga banne abalala abali ku ludda oluvuganya nga bava mu bibiina eby’enjawulo omuli n’ekibiina ekikulemberwa Robert Kyagulanyi Ssentamu ekya NUP, naabatwaala ewa Pulezidenti Museveni mu Maka g’obwa Pulezidenti Entebe.
Omu ku basatu Nsibambi beyagambye nti yabatwaala ewa Pulezidenti mwemuli ne Latif Ssebaggala eyammibwa akakonge kukuvuganya ku kifo kya Ssentebe wa Kawempe Division, oluvanyuma naasalawo okuvuganya ku bwa namunigina, ate nawagulwa bubi nnyo munna NUP Emmanuel Sserunjogi Ow’eddembe.
Nsibambi alowoozesezza banna Uganda nti oba oli awo yandiba nti yayise Tembo, olwokuba yavuddemu ak’obuntu nasala emiti gy’amasanyaleze geyali attutte mu kitundukye nga alanga abalonzi obutamuwa kalulu.
Yusuf Nsibambi Yaani?
Yusuf Nsibambi ye mubaka akikirira Mawokota Y’omumasererengeta era nga yawangula ekifo kino mu kalulu akakubwa mu 2021. Okuva olwo okutuusa jjo ly’abalamu, lweyawanguddwa. Nsibambi munnamateeka era agalinamu diguli ey’okubiri era nga mu kisanja kino kyamalako, yaabadde Nampala w’ekibiinakye eky FDC mu lukiiko lw’Eggwanga.






