Uganda Today: Team ya Uganda ey’omuppiira ogw’okubaka, The She Cranes kikakasiddwa nti kati y’ekulembera mu mu kubaka omuppiira ku Ssemazinga Africa ate mu nsi yonna ekwata ekifo kyakutaano. Ekkula lino erituuseeko ku Sande nga 06/08/2023 bweyakubye ababadde nnamba emu mu Africa – South Africa obugoba 49 ku 47.