Olunnaku Omulamuzi Gladys Kamasanyu Lwatalyerabira
Yawuttwalwa akacupa k'amazzi mu Kyeenyi nga asalidde Stella Nyanzi omusango okusibwa emyeezi 18

UgandaLeero: Ebyewuunyisa nga bwe bitaggwa mu Nsi.
Olunnaku luno lwaakya bulungi nga bulijjo eri omulamuzi Gladys Kamasanyu, era yali tamanyidde ddala ki ekyaali kigenda okumutuukaako nga ali mu Kooti nga asalira Stella Nyanzi eyali omusibe e Luzira omusango, kyaali kijja kuba ekintu kyatalyerabira.Omwaka guno gwaali gwa 2019.
Nyanzi ataaleetebwa mu Kooti wabula eyasigala e Luzira naye ebyaali bigenda mu maaso nebiragibwa butereevu ku nimbe za TV, yakola ebyewuunyisa bwe yeyambulamu olugoye olwa waggulu naatandika okusunda amabeerege n’omuserikale eyali agezaako okumukomako namukuba omukono.
#StellaNyanzi #UgandaToday #GladysKamasanyu #PhoenixNewsFeeds #OpearNewsFeeds




