Omukadde Mayombwe Asiimiddwa Ab’eKannisa Ye Masanafu SDA

Nga bajjaguza olwomukadde we Kannisa mwami Nelson Isaac Mayombwe Mutajemerwa III okuweza emyaaka gye 93 egyobukulu, SDA Masanafu baamuyozayozezza n'okumuntendereza olw'obuwerezabwe obutaliko kwebalirira nga omutandisi we Kannisa eyo.

UgandaToday: UgandaLeero: Omukadde Mayombwe Asiimiddwa Ab’eKannisa Ye Masanafu SDA

Mwami Nelson Isaac Mayombwe Mutajemerwa III, nga yaweza egy’obukulu 93 nga 15/09/2025, yasiimiddwa ab’eKannisa ye Masanafu SDA, ye ne banne okuli mwami Walugembe Baker, Mwami Kannamwangi John, Mwami Kalule Joseph ne Mukyala Luyima gyebatandika mu mwaaka gwe 2000, kati emyaaka 25 egiyise.

Nga bajaguza obulamu bwa Mayombwe, ab’eKannisa baamuyiyirizza oluyimba olunyuvu lwebamuyimbidde nga ekirabo ekimusiima olw’omulimu gweyakola nga batandika e Kannisa ye Masanafu SDA.

Mwami Mayombwe nga ali ne Muwalawe Rebecca Nakitandwe September 27, 2025

Nelson Mayombwe Yaani?

Mayombwe mutuuze we Kawempe  mu Ssaza lya Ssaabasajja erye Kyaddondo wabula nga ava mu Ssaza lya Ssaabasajja erye Bulemeezi. Mwami Mayombwe mutabani wa Blasio Lule Mutajemerwa II era nga Muzzukulu wa Isaaka Ssebbowa Mutajemerwa I. Yazaalibwa nga 15/09/1932 e Namulonge mu Matenite Senta Gayaza. Mayombwe ye omu ku baana 12 abaazalibwa Blasio Lule Mutajemerwa ne munne Abigail Nampeera. Mayombwe yeddira Ngonge era ava mu Mutuba gwa Mukuma e Sempa, mu Ssiga lya Lutaaya e Bbongole mu Kika kye Ngonge.

Wuliriza Oluyimba luno  (Otekeddwa okuba ne YouTube Channel ku Ssimu)

Advertising Toyota Vigo

 

Mwami Nelson Isaac Mayombwe, (Ow’okubiri ku Kkono ) ng ali ne bagandabe Dr. Lutaaya, Mwami Wamala ne mwanyina Nakiganda  bweyali aweza emyaaka 90 mu 2022.

Mr. Mayombwe nga ali ne batabanibe ne bawalabe Muky. Roy Balambi Mayombwe Iga, Rebecca Mayombwe, Ronald Kitandwe Mayombwe and Dr. Robert Lutaaya Mayombwe.

Mayombwe Muzzukulu wa Isaac Ssebbowa Mutajemerwa I, eyali Omulamuzi era nga yaakulira Abambowa  mu Lubiri lwa Kabaka e Mengo.  Olwokuba nekifo kino mu buwereza bwa Ssaabasajja,  nga kuno, kwogasse okuba omulwaanyi namige mu Ssematalo ow’okubiri  mu Burma, Ssekabaka yawa  Isaac Ssebbowa (Jjajja wa Mayombwe) ettaka lya sikweya Mailo 2 e Singo.

Mwami Mayombwe nga kati atambulira ku Muggo, mukifanaanyi nabaanabe. Kkono-Ddyo: Rebecca Mayombwe, Roy Balambi Mayombwe Iga, Rhoda Nalule Mayombwe Nsereko, Mr.Mayombwe, Ronald Kitandwe Mayombwe, Dr. Ivan Lule Mayombwe, Henry Lule Mayombwe, William Kiganda Mayombwe ne  Dr. Robert Lutaaya Mayombwe

Bwebabaliriramu olugendo olunene okuva e Mengo, okugenda e Singo, baganda ba Isaac Ssebowa abakulu okwaali William Bbalagadde Musitala ne Philip Asane Mukuma nga ate nabo baali baami ba Ssaabasajja nga balina e ttaka ddenne nyo mu bitundu byaabwe gyebaali balamulirako Ssaabasajja Obuganda, mu  Kisitala ne e Sempa Katikamu mu Bulemeezi Isaac Ssebbowa, yaweebwa amagezi okunoonya omuntu eyali alina e ttaka  mu Bulemeezi, nebawanyisiganyaamu ne ttaka lye erye Singo. Ettaka lino lwafuunibwa e Kikyuusa Bulemeezi awo bonna ab’oluganda nebakkalira mu Bulemeezi kati eyitibwa Luweero disitilikiti.  Mayombwe ye mukulu ku baana ba Blasio Lule abataano enkuyege bezikyakubira enduulu.

Nelson Isaac Mayombwe Munna bya njigiriza

Mwami Mayombwe nga ayogerako eri abagenyibe bweyali ajaguza okuweza emyaaka 90 mu 2022 . Dr. Lutaaya ku kkono, Mwami Wamala Ku ddyo Nab’oluganda abe Ngonge abalala.

Mayombwe nga muto, ow’enzikiriza yaba adiventi, Kitaawe Blasio Lule Mutajemerwa II gyeyali amattiziddwa mugandawe Enoch Ssemwaga, okugoberera nga ava mu Kannisa ya Uganda (pulotesintante)  yatandika okusomakwe ku Namungoona Primary School, Bugema Primary School, Aggrey Memorial Secondary n’oluvanyuma  yagenda mu Lubiri Senior Secondary School gyeysisinkana bayizi banne omwaali eyali omumyuuka wa President Edward Kiwanuka Ssekandi,  Katikkiro wa Buganda eyammula Dan Muliika ne eyali Ssaabawolereza wa Buganda  Katende.

Bawala ba Mayombwe: Kkono-Ddyo- Rhoda Nalule Mayombwe Nsereko, Rebecca Mayombwe, Roy Balambi Mayombwe Iga

Lwaaki Mayombwe Ayogerwaako Nga Munna Bya Njigiriza?

Mayombwe yafumbiriganwa ne munne mu 1965, era ddala, Katonda yabaggonomolako ezzadde abaana bano: Rebecca Mayombwe  owe UK, William Kiganda Mayombwe  Human Resource Commissioner eyawummula emirimu gye mu Uganda Revenue Authority, Muky. Roy Balambi Mayombwe Iga, Dr. Lutaaya Robert Mayombwe ali e Bungereza, Ronald Kitandwe ali Bungereza, Henry Lule Mayombwe, Dr. Ivan Lule Mayombwe, nga ono ali ku Lukiiko olufuzi olwa Uganda National Planning Authority ne Rhoda Nalule Nsereko Mayombwe. Mwami Mayombwe ayogerwaako nga munna bya njigiriza olwokuba yatwaala obuvunaanyizibwa okusomesa abaanabe bonna nebasobola okufuna obukugu obwenjawulo okutuuka ku ddaala erya diguli n’abalala ku maddaala agaddako.  Era bwokyaalira mwami Mayombwe, Eddiiro lye lyonna lijjudde ebifanaanyi by’abaanabe nga battikkirwa.

Emirimu Gya Mayombwe Gyeyakola

Mayombwe Nga awungulwaako mu Motoka mutabaniwe Lutaaya bweyali azze mu Uganda kujaguzza emwaaka 90 mu 2022. Mayombwe yakolera  mu Ddwaliro e Mulago nga atuukirwaako essimu zonna, mu mulembe ogwo, nga zino essimu za buli wooli nkufuna tezzinnajja. Bweyava eyo, ye ne banne nebatandika Kampuni yaba Seventh Day Adventist ekuba ebyapa (printing)  Maranatha Printing Press gyeyakolera nga Ssenkulu waayo okutuusa lweyawummula naatandika okuwereza Katonda.

Nga Omutandisi wa  Masanafu SDA Church

Omuseveniside atabuusibwabuusibwa, Mwami Mayombwe yaliko Omukadde we Kannisa e  Makerere n’oluvanyuma e Nakulabye Kiwuunya SDA Churches, nga ayita mu buggubi obungi, olw’ekisa kya Katonda ye ne banne baatandika Masanafu SDA Church gyasabira nabuli kati ku myaaka gye 93 nga ayambibwaako omulenzi mutabaniwe Ivani Lule  ne mumuwalawe Rebecca Mayombwe abamutwaala buli Ssabbiiti okusinza e Masanafu.

Mayombwe Yafufugaza  COVID-19 Era Olumu Yawona Okutemulwa

Mwami Mayombwe, nga era abantu abalala bonna Katonda baawa obuwangaazi okutuuka ku gino 93, ayise mu bizibu ebiwerako. Ku mulembe gwa  Amin yawona okutemulwa ba Kkondo ababayingirira mu mattumbi budde nga babasaba ensiimbi zeebatalina. Yawonera watono awaalema Ekkere okubuuka, akalenzi katabanike ek’emyaaka 5 gyokka ka Ronald Kitandwe bwekayingira mu Kisenge abatemu mwebaali batulugunyiza bazadde baako, nga ate mu butamanya bwekito, keekaali kabaniriza nga bayingidde mu Ddiiro mwebakasaanga nga kalaba TV kokka. Mu kiseera kino Kkondo eyali agenda okukwaata ku Manduso alase Mayombwe, bweyalaba akalenzi kano naakyuusa ekirowoozo kye.

Mu 2020, nga COVID-19, agoya Ensi Mwami Mayombwe eyali owe 88 awamu n’omukyala baakwatibwa COVID-19. Nga Katonda bweyagereka, Omukyala teyalusukka wabula Mayombwe ye yawona.

Mwami  Mayombwe, nga ali mu Makaage e Kawempe alindirira okumutwaala ku Kannisa e Masanafu.

Tags: #NelsonMayombweYaani #UgandaLeero #UgandaToday #PhoenixNewsFeed #OperaNewsFeeds

Publisher

Toyota Vigo

Related Articles

Back to top button
error: Content is protected !!